YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 21

21
Obunnabbi eri Babbulooni
1Omugugu ogw'eddungu ery'ennyanja.
Nga kibuyaga ow'omu bukiikaddyo bw'ayita amangu,
bwe watyo bwe wava mu ddungu,
mu nsi ey'entiisa.#Zek 9:14
2Okwolesebwa okuzibu kumbuuliddwa;
omulyazaamaanyi alyazaamaanya,
n'omunyazi anyaga.
Yambuka, ggwe Eramu,
zingiza, ggwe Obumeedi;
okusinda kwonna kwe yaleeta,
nkukomezza.#Is 13:17; 24:16; 33:1
3Ekiwato kyange kyekivudde kijjula okubalagalwa;
obulumi bunkutte
ng'obulumi bw'omukazi alumwa okuzaala;
nnyoleddwa n'okuyinza ne ssiyinza kuwulira;
nkeŋŋentereddwa n'okuyinza ne ssiyinza kulaba.
4Omutima gwange guwejjawejja,
okwesisiwala kunkanze,
ekiro kye nnali neegomba kifuuse gye ndi kukankana.#Ma 28:67
5Bategeka emmeeza,
bassaawo abakuumi,
balya, banywa.
Mugolokoke, mmwe abakulu,
musiige amafuta ku ngabo.#Yer 51:39
6Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti,
“Genda osseewo omukuumi;
ategeeze ky'anaalaba.
7era bw'alabanga ekitongole, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu,
ekibiina ky'endogoyi, ekibiina ky'eŋŋamira,
awuliranga nnyo
nga yeetegereza bulungi.”
8Omukuumi n'ayogera mu ddoboozi ery'omwanguka nti,
“Ayi Mukama, bulijjo emisana nnyimirira
ku kigo awakuumirwa,
era nkeesa obudde nga ndi ku mulimu gwange.#Kaab 2:1
9Era, laba, wajja ekitongole ky'abantu,
abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu.”
N'addamu n'ayogera nti,
“Babbulooni kigudde, kigudde;
n'ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo
bibetenteddwa wansi ku ttaka.”#Yer 50:2; 51:8, Kub 14:8; 18:2
10Woowe ggwe okuwuula kwange era eŋŋaano ey'omu gguuliro lyange,
ebyo bye mpulidde ebivudde eri Mukama ow'eggye,
Katonda wa Isiraeri, mbibabuulidde.#Yer 51:33, Am 1:3
Obunnabbi eri Edomu
11Omugugu gwa Duuma.
Waliwo ampita ng'ayima ku Seyiri nti,
“Omukuumi, eby'ekiro bitya?
Omukuumi, eby'ekiro bitya?”#Lub 36:8, Ez 35:2
12Omukuumi n'ayogera nti,
“Bulikya era buliziba.
bwe mwagala okubuuza, mubuuze,
mukyuke mujje.”
Obunnabbi eri Buwalabu
13Omugugu oguli ku Buwalabu.
Mu bisaka bya Buwalabu mwe mulisula,
mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja.#Lub 37:25
14Oyo eyalumwa ennyonta baamuleetere amazzi;
abatuula mu nsi ey'e Teema baasisinkana
abadduse n'emmere yaabwe.
15Kubanga badduka ebitala,
ekitala ekisowole,
n'omutego ogunaanuddwa,
akabi k'olutalo.
16Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti, “Omwaka nga tegunnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kiriggwaawo,#Is 60:7, Ez 27:21 17n'abalifikkawo ku muwendo gw'abalasi, abasajja ab'amaanyi ab'oku baana ba Kedali, baliba batono: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, akyogedde.”#Is 1:20

Currently Selected:

Isaaya 21: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in