Isaaya 16
16
1Muweereze abaana b'endiga
eri oyo afuga ensi,
okuva e Seera ng'oyita mu ddungu,
okutuuka ku lusozi lwa muwala wa Sayuuni.#2 Bassek 3:4
2Kubanga olulituuka ng'ennyonyi ezaabulwako
ekisu n'ezisaasaana,
bwe batyo bwe baliba bawala ba Mowaabu
ku misomoko gya Alunoni.
3Teesa ebigambo,
mala omusango;
fuula ekisiikirize kyo okuba ng'ekiro
wakati mu ttuntu:
kweka abagobeddwa;
tolyamu lukwe adaagana.
4Muleke Abamowaabu abajja bagobebwa
batuule nammwe;
Mubeere ekiddukiro kyabwe
mu maaso g'omunyazi,
kubanga atulugunya azikiridde,
okunyaga kuwedde,
abajoozi bawedde mu nsi.#1 Sam 22:3
5Entebe ey'obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala,
era walibaawo aligituulako mu mazima,
mu weema ya Dawudi;
ng'asala emisango, era ng'agoberera eby'ensonga,
era omwangu okukolanga eby'obutuukirivu.#Zab 89:14, Is 32:1, Dan 7:14,27, Luk 1:33
6Tuwulidde amalala ga Mowaabu,
nga wa malala mangi nnyo;
okwemanya kwe, amalala ge n'okuvuma kwabwe,
okwenyumiriza kwe tekuliimu.#Yer 48:29,30
7N'olwekyo leka Mowaabu akaabe,
leka buli muntu akaabire Mowaabu.
balinakuwala n'ebayongobera,
olw'emigaati egya zabbibu egy'e Kirukaleseesi.
8Kubanga ennimiro ez'e Kesuboni ziwotoka,
n'omuzabbibu ogw'e Sibuma;
abakungu ab'amawanga
bamenyedde ddala emiti gyagwo egyasinga obulungi;
gyabuna okutuuka e Yazeri,
gyatuuka mu ddungu;
amatabi gaagwo gaalanda,
gatukira ddala ku nnyanja.#Yer 48:32
9Kyennaava nkaaba amaziga nga Yazeri akaaba
olw'omuzabbibu ogw'e Sibuma;
nnaakutobya n'amaziga gange,
ggwe Kesuboni ne Ereyale;
kubanga ku bibala byo eby'ekyengera ne ku bikungulwa byo
kukubiddwako olube.
10Essanyu n'okweyagala biweddewo,
mu nnimiro engimu;
ne mu nsuku z'emizabbibu temuliba kuyimba,
newakubadde eddoboozi ery'okusanyuka,
tewaliba musogozi alisogolera omwenge mu masogolero;
nkomezza emizira gy'abasogozi.#Yer 48:33
11Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu ng'ennanga,
ne munda yange nkaabira Kirukeresi.
12Awo olulituuka, Mowaabu bw'alyeyanjula, bw'alyekooya mu kifo ekigulumivu, n'ajja mu watukuvu we okusaba, tekirimuyamba.#1 Bassek 18:29, Is 15:2
13Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby'edda. 14Naye kaakano Mukama ayogedde nti, “ Emyaka esatu nga teginnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kya Mowaabu kirinyoomebwa awamu n'ekibiina kye kyonna ekinene; n'abo abalifikkawo baliba batono nnyo ate nga banafu ddala.”
Currently Selected:
Isaaya 16: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.