YouVersion Logo
Search Icon

Kaggayi 2

2
Ekitiibwa ekyasooka n'eky'oluvannyuma eky'ennyumba ya Mukama (2:1-9)
1Mu mwaka ogwokubiri ogwa Daliyo kabaka, mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'abiri mw'olumu, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Kaggayi nnabbi nga kyogera nti, 2“Gamba nno Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu n'abantu abafisseewo, obagambe nti, 3‘Ani asigadde mu mmwe eyalaba ennyumba eno mu kitiibwa kyayo ekyasooka? Era mugiraba mutya kaakano? Temugiraba nga teriimu ka buntu mu maaso gammwe?#Ezer 3:12 4Era naye kaakano beera n'amaanyi, ayi Zerubbaberi, bw'ayogera Mukama; era beera n'amaanyi, ayi Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; era mubeere n'amaanyi, mmwe mwenna abantu ab'omu nsi, bw'ayogera Mukama, mukole omulimu, kubanga nze ndi wamu nammwe, bw'ayogera Mukama w'eggye,#Zek 4:10; 8:9 5ng'ekigambo bwe kiri kye nnalagaana nammwe bwe mwava mu Misiri. Omwoyo gwange gunnabeeranga mu mmwe; temutya.#Kuv 29:45, Nek 9:20, Zek 8:13,15 6Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti, Ekyasigaddeyo omulundi gumu, ekiseera kitono, nkankanye, eggulu n'ensi n'ennyanja n'olukalu.#Beb 12:26 7Ndikankanya amawanga gonna, n'ebyo eby'egombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye.#Is 52:15; 60:9,17 8Effeeza yange ne zaabu, yange, bw'ayogera Mukama ow'eggye.#1 Byom 29:14,16 9Ekitiibwa eky'ennyumba eno, eky'oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka, bw'ayogera Mukama w'eggye; era mu kifo kino mwe ndiweera okukulakulana, bw'ayogera Mukama w'eggye. ’ ”
Okwenenya n'omukisa
(2:10-19)
10Ku lunaku olw'abiri mw'ennya (24) olw'omwezi ogw'omwenda mu mwaka ogwokubiri, ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Kaggayi nnabbi nga kyogera nti, 11“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Buuza nno bakabona baasalewo ku kibuuzo kino,#Leev 10:10,11 12Omuntu bw'asitulira ennyama entukuvu mu kirenge eky'ekyambalo kye, n'akoma ku mmere n'ekirenge kye oba mugoyo, oba mwenge, oba mafuta, oba mmere yonna, kyakomyeko kifuuka kitukuvu?” Bakabona ne baddamu ne boogera nti, “ Nedda.” 13Awo Kaggayi n'alyoka ayogera nti, “Omuntu atali mulongoofu olw'omulambo bw'aba ng'akomye ku kimu ku ebyo byonna, kiriba ekitali kirongoofu?” Bakabona ne baddamu ne boogera nti, “Kiriba ekitali kirongoofu.”#Leev 22:4,6, Kubal 19:22 14Awo Kaggayi n'alyoka addamu n'ayogera nti, “Abantu bano bwe bali bwe batyo, era eggwanga lino bwe liri bwe lityo mu maaso gange, bw'ayogera Mukama; era na buli mulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli bwe gutyo; n'ekyo kye baweerayo eyo si kirongoofu.”#Is 64:6
Mukama asuubiza abantu omukisa gwe
15“Kale nno, mbeegayiridde, mulowooze okuva leero n'okudda emabega, ejjinja nga terinaba kuteekebwa ku jjinja mu Yeekaalu ya Mukama, 16byali bitya? Mu biro ebyo byonna omuntu bwe yajjanga eri entuumu y'eŋŋaano, ey'ebigera abiri (20) waabangawo kkumi (10) jjereere; omuntu bwe yajjanga eri essogolero okusena ebita ataano (50), nga mulimu abiri (20) meereere. 17N'abakuba n'okugengewala n'obukuku n'omuzira mu mulimu gwonna ogw'emikono gyammwe, era naye temwankyukira.” Bw'ayogera Mukama.#Am 4:6,9, Kag 1:9 18“Mulowooze, mbeegayiridde okuva leero n'okudda emabega, okuva ku lunaku olw'abiri mu ennya olw'omwezi ogw'omwenda, okuva ku lunaku lwe baasimba omusingi gwa Yeekaalu ya Mukama, mukirowooze.#Ezer 3:10, Zek 8:9 19Ensigo zikyali mu ggwanika? Weewaawo, omuzabbibu n'omutiini n'omukomamawanga n'omuzeyituuni teginnabala; okuva ku lunaku lwa leero, ndibawa omukisa.”#Yo 2:14, Zek 8:12
Mukama bye yasuubiza Zerubbaberi (2:20-23)
20Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Kaggayi omulundi ogwokubiri ku lunaku olw'abiri mw'ennya olw'omwezi nga kyogera nti, 21“Yogera ne Zerubbaberi owessaza lya Yuda omugambe nti, Nja kukankanya eggulu n'ensi;#Zek 4:6 22era ndisuula entebe ey'obwakabaka bungi, era ndizikiriza amaanyi ag'obwakabaka obw'amawanga; era ndisuula amagaali n'abo abagatambuliramu; n'embalaasi n'abo abazeebagala balikkakkanyizibwa buli muntu n'ekitala kya muganda we.#Dan 2:44, Mi 5:10, Zek 14:13, Mat 24:7 23Ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndikutwala ggwe, ayi Zerubbaberi omuddu wange, mutabani wa Seyalutyeri, bw'ayogera Mukama, ne nkufuula ng'akabonero, kubanga nkulonze gwe, bw'ayogera Mukama ow'eggye.”#Yer 22:24

Currently Selected:

Kaggayi 2: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in