Kaabakuuku 2:2-3
Kaabakuuku 2:2-3 LBR
Awo Mukama n'anziramu n'ayogera nti, “Wandiika okwolesebwa okwo okwole bulungi ku bipande,” alyoke adduke mbiro oyo abisoma. Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, tekulirimba, bwe kuba nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.





