YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 50

50
1Yusufu n'agwa ku kitaawe n'akaaba nnyo, n'amunywegera.#Lub 46:4 2Yusufu n'alagira abaddu be abasawo okukalirira kitaawe. Abasawo ne bamukalirira Isiraeri. 3Ne bamala ennaku ana (40) nga bamukalirira; kubanga bwe zityo ennaku ez'okukaliriramu bwezaalinga. Abamisiri ne bamala ennaku nsanvu (70) nga bamukungubagira.#Kubal 20:29, Ma 34:8
4Awo ennaku ez'okumukaabira bwe zaggwa, Yusufu n'agamba ennyumba ya Falaawo nti, “Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso gammwe, mbeegayiridde, muŋŋambire Falaawo nti#Lub 33:15 5Kitange yandayiza ng'ayogera nti, ‘Bwe nfanga munziikanga mu ntaana gye nneesimira eri mu nsi ya Kanani.’ Kale kaakano nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende nziike kitange, nkomewo.”#2 Byom 16:14, Is 22:16, Mat 27:60 6Falaawo n'ayogera nti, “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.” 7Yusufu n'agenda okuziika kitaawe; n'abaddu bonna aba Falaawo, n'abakungu ab'omu nnyumba ye n'ab'omu nsi ey'e Misiri ne bagenda naye. 8Ennyumba yonna eya Yusufu, ne baganda be, n'ennyumba ya kitaawe nabo ne bagenda; okuggyako abaana baabwe abato, endiga n'ente zaabwe ebyo byokka bye baaleka mu kitundu ky'e Goseni. 9Awo Yusufu n'agenda n'ab'amagaali, n'abeebagadde ku mbalaasi; ekibiina ne kiba kinene nnyo. 10Ne batuuka ku gguuliro lye Atadi eriri emitala wa Yoludaani, ne bakubira eyo ebiwoobe bingi nnyo. Yusufu n'amala ennaku musanvu (7) ng'akaabira kitaawe.#2 Sam 1:17, Bik 8:2 11Abantu ab'omu nsi y'e Kanani, bwe baalaba nga bakaabira mu gguuliro lye Atadi, ne boogera nti, “Abamisiri nga bakaaba nnyo!” Ekifo ekyo kye kyava kituumibwa erinnya Aberumiziraimu,#50:11: Aberumiziraimu Mu Lwebbulaniya kitegeeza “okukaaba kw'Abamisiri.” ekiri emitala wa Yoludaani. 12Abaana ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira. 13Bwe batyo abaana be ne basitula omulambo gwa kitaabwe ne bagutwala mu nsi ya Kanani, ne baguziika mu mpuku eri mu nnimiro y'e Makupeera ebuvanjuba bwa Mamule. Ibulayimu yagula empuku awamu n'ennimiro ku Efulooni Omukiiti, okuba obutaka obw'okuziikangamu.#Lub 49:30
14Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe, n'addayo mu Misiri wamu ne baganda be, ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe.
Yusufu agumya baganda be
15Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe amaze okufa, ne boogera nti, “Mpozzi Yusufu ajja kutukyawa, yeesasuze obubi bwonna bwe twamukola.” 16Ne batumira Yusufu nga boogera nti, “Kitaffe bwe yali nga tannafa, 17yatugamba tukugambe nti, ‘Sonyiwa okwonoona kwa baganda bo n'ekibi kyabwe, kubanga baakukola bubi.’ Naffe kaakano tukwegayiridde sonyiwa okwonoona kw'abaddu ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu n'akaaba amaziga bwe baamugamba ebigambo ebyo.#Lub 49:25 18Awo baganda be ne bajja ne bavuunama mu maaso ge, ne bagamba nti, “Kaakano tuli baddu bo.”#Lub 42:6 19Yusufu n'abagamba nti, “Temutya, nze ssiri mu kifo kya Katonda okubabonereza.”#Lub 30:2, 2 Bassek 5:7 20Nammwe, mwayagala okunkolako obubi, naye Katonda n'ankolera ebirungi nga bwe kiri kaakano, asobole okuwonya abantu abangi okufa.#Lub 45:5,7 21Kale kaakano temutya; nnaabalabiriranga mmwe n'abaana bammwe abato. Bw'atyo n'abagumya n'ebigambo ebyo eby'ekisa.#Lub 47:12
Okufa kwa Yusufu
22Yusufu n'atuulanga mu Misiri ye n'ennyumba ya kitaawe; n'awangaala emyaka kikumi mu kkumi (110). 23Yusufu n'alaba ku baana ba Efulayimu, abazzukulu bannakasatwe; era n'aleera ku baana ba Makiri mutabani wa Manase.#Lub 30:3, Kubal 32:39, Yob 42:16 24Yusufu n'agamba baganda be nti, “Ndi kumpi kufa, naye Katonda talirema kubajjira n'abaggya mu nsi eno, okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo.”#Lub 28:13, Kuv 3:16,17, Beb 11:22 25Awo Yusufu n'alayiza abaana ba Isiraeri ng'abagamba nti, “Katonda talirema kubajjira, era nammwe mutwalanga amagumba gange okugaggya mu nsi eno.” 26Bw'atyo Yusufu n'afa, ng'awezezza emyaka kikumi mu kkumi (110). Ne bamukalirira, ne bamuteeka mu ssanduuko mu Misiri.#Lub 50:2

Currently Selected:

Olubereberye 50: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in