YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 48

48
Yakobo asabira Efulayimu ne Manase omukisa
1Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne bagamba Yusufu nti, “Kitaawo mulwadde,” n'atwala batabani be bombi, Manase ne Efulayimu.#2 Sam 4:9, Is 63:9 2Ne bagamba Yakobo nti, “Omwana wo Yusufu azze okukulaba.” Isiraeri ne yeekakaabiriza, n'atuula ku kitanda. 3Yakobo n'agamba Yusufu nti, “Katonda Omuyinza w'ebintu byonna yandabikira e Luzzi mu nsi ya Kanani, n'ampa omukisa,#Lub 28:13,19 4n'aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza, ndikwongera, ndikufuula ekibiina ky'amawanga; era ndiwa ezzadde lyo eririddawo ensi eno, okuba obutaka obw'emirembe n'emirembe.’#Lub 35:11,12 5Ne kaakano batabani bo bombi, abaakuzaalirwa mu nsi y'e Misiri nga sinnajja eno gy'oli mu Misiri, bange. Efulayimu ne Manase banaabanga bange, nga Lewubeeni ne Simyoni bwe bali.#Lub 46:20, Yos 14:4 6Abaana b'olizaala okudda ku bano be baliba ababo, era obusika balibufunira ku baganda baabwe abo. 7Nange, bwe nnali nva mu Padani, Laakeeri n'anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga wakyasigaddeyo ebbanga ddeneko okutuuka e Efulansi; ne mmuziika eyo ku kkubo erigenda e Efulasi, ye Besirekemu.”#Lub 35:16-19 8Isiraeri n'alaba abaana ba Yusufu, n'amubuuza nti, “Bano be baani?” 9Yusufu n'addamu kitaawe nti, “Be baana bange, Katonda be yampeera wano mu Misiri.” N'amugamba nti, “Nkwegayiridde Baleete mbasabire omukisa.”#Lub 33:5 10Era amaaso ga Isiraeri gaali gayimbadde olw'obukadde, nga takyalaba bulungi. Yusufu n'abamusembereza; Isiraeri n'abawambaatira, n'abanywegera. 11Isiraeri n'agamba Yusufu nti, “Nali sisuubira kuddayo kukulabako; naye kaakano Katonda andabisizza ne ku baana bo.”#Lub 45:26 12Yusufu n'abaggya mu maviivi ga Isiraeri n'alyoka avuunama ku ttaka. 13Yusufu n'abakwata bombi, Efulayimu n'omukono gwe ogwa ddyo awali omukono ogwa kkono ogwa Isiraeri, ne Manase n'omukono gwe ogwa kkono awali omukono ogwa ddyo ogwa Isiraeri, n'abasembeza gy'ali. 14Naye Isiraeri n'agolola emikono gye n'agigombeza; ogwa ddyo n'agussa ku mutwe gwa Efulayimu omuto, ogwa kkono n'agussa ku mutwe gwa Manase omukulu. 15N'asabira Yusufu omukisa n'ayogera nti,
“Katonda wa bajjajjange Ibulayimu ne Isaaka gwe baaweerezanga,
Katonda andabiridde ennaku zange zonna okutuusa leero;#Lub 17:1; 24:40
16malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe abalenzi omukisa.
Erinnya lyange, n'erya jjajjange Ibulayimu ne kitange Isaaka gatuumibwenga mu bo,
era bafuuke ekibiina ekinene mu nsi.”#2 Sam 4:9, Is 63:9
17Yusufu bwe yalaba nga kitaawe assizza omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efulayimu, n'anyiiga; n'asitula omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu okugussa ku mutwe gwa Manase.#Lub 48:14 18Yusufu n'agamba kitaawe nti, “Nedda, kitange; Manase ye mubereberye; ssa omukono gwo ogwa ddyo ku mutwe gwe.” 19Kitaawe n'agaana n'ayogera nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi; Manase alifuuka ggwanga, era aliba mukulu; naye muto we ye alimusinga obukulu, n'ezzadde lye lirivaamu amawanga amangi.”#Kubal 2:19,21, Ma 33:17
20N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'ayogera nti,
“Mu Isiraeri bwe banaabanga basabira omuntu omukisa, banaakozesanga amannya gammwe, nga bagamba nti,
‘Katonda akufuule nga Efulayimu ne Manase.’ ”#Luus 4:11
21Isiraeri n'agamba Yusufu nti, “Laba nnaatera okufa, naye Katonda anaabanga wamu nammwe, era alibazzaayo mu nsi ya bajjajjammwe.#Lub 46:4 22Isiraeri n'agamba Yusufu nti naye ggwe, nkwongeddeko omugabo gumu okusinga baganda bo, kye kitundu ky'e Sekemu kye nnawamba ku ba Amoli nga nkozesa ekitala n'omutego gwange.”#Yos 24:32

Currently Selected:

Olubereberye 48: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in