Okuva 29
29
1“Era bw'olibakola bw'otyo okubatukuza, bampeereze mu bwakabona; otwale ente ennume ento n'endiga ennume bbiri ezitaliiko bulema, 2n'emigaati egitazimbulukusiddwa, n'obugaati obutazimbulukusiddwa obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukusiddwa egisiigiddwako amafuta; oligikola n'obutta obulungi obw'eŋŋaano.#Leev 2:4 3Era oligiteeka mu kabbo kamu, oligireetera mu kabbo, awamu n'ente n'endiga ebbiri. 4Ne Alooni n'abaana be olibaleeta ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, olibanaaza n'amazzi. 5Era oliddira ebyambalo n'oyambaza Alooni ekizibawo, n'omunagiro ogw'ekkanzu, n'ekkanzu, n'eky'omukifuba, n'omusiba olukoba olw'ekkanzu olulukibbwa n'amagezi;#Kuv 28:2-4,8 6era olissa ekiremba ku mutwe gwe, n'oteeka engule entukuvu ku kiremba.#Kuv 28:36,37 7N'olyoka otwala amafuta ag'okufukibwako, n'ogafuka ku mutwe gwe, n'omutukuza#Kuv 30:25 8Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo. 9Era olibasiba enkoba, Alooni n'abaana be, n'obassaako enkuufiira; era banaabeeranga n'obwakabona mu kiragiro ekitaliggwaawo. Bw'otyo bw'olyawula Alooni n'abaana be.”#Kuv 27:21; 28:39,40
10“Era olireeta ente mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'ente. 11Era olisala ente mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 12N'otwala ku musaayi gw'ente n'oguteeka ku mayembe g'ekyoto n'olunwe lwo; n'oyiwa omusaayi gwonna mu ntobo y'ekyoto.#Kuv 27:2 13Era olitwala amasavu gonna agabikka ebyenda, n'ekisenge ekiri ku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'obyokera ku kyoto.#Leev 3:3,4 14Naye ennyama y'ente, n'eddiba lyayo, n'obusa bwayo, olibyokya n'omuliro ebweru w'olusiisira; kye kiweebwayo olw'ebibi.”#Leev 4:11,12, Beb 13:11
15“Era olitwala endiga emu; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 16Era olisala endiga, n'otwala omusaayi gwayo, n'ogumansira ku kyoto okukyetooloola. 17Era olitemaatema endiga mu bitundu byayo, n'onaaza ebyenda byayo, n'amagulu gaayo, n'obiteeka wamu n'ebitundu byayo n'omutwe gwayo. 18Era olyokera ku kyoto endiga ennamba; kye kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama; lye vvumbe eddungi, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.”
19“Era olitwala endiga eyokubiri; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 20N'olyoka osala endiga, n'otwala ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okwa Alooni, ne ku nsonda z'amatu aga ddyo ag'abaana be, ne ku binkumu eby'oku mikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere byabwe ebisajja ebya ddyo, n'omansira omusaayi ku kyoto okukyetooloola. 21Era olitwala ku musaayi oguli ku kyoto, ne ku mafuta ag'okufukibwako, n'obimansira ku Alooni, ne ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be wamu naye; naye alitukuzibwa, n'ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be wamu naye.”
22“Era olitwala ku ndiga amasavu, n'omukira ogw'amasavu, n'amasavu agabikka ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo; kubanga ye ndiga ey'okutukuza; 23n'omugaati gumu, n'akagaati akasiigibbwako amafuta kamu, n'omugaati ogw'oluwewere gumu, ng'oggya mu kabbo ak'emigaati egitazimbulukusiddwa akali mu maaso ga Mukama; 24era olibissa byonna mu ngalo za Alooni, ne mu ngalo z'abaana be; n'obiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. 25Era olibiggya mu ngalo zaabwe, n'obyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi mu maaso ga Mukama; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.”#Leev 6:22
26“Era olitwala ekifuba ky'endiga ya Alooni ey'okutukuza, n'okiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; era ekyo kinaabanga mugabo gwo.#Leev 7:31 27Era olitukuza ekifuba eky'ekiweebwayo ekiwuubibwa, n'ekisambi eky'ekiweebwayo ekisitulibwa, ekiwuubibwa era ekisitulibwa, eky'endiga ey'okutukuza, ye eyo eya Alooni, n'eyo ey'abaana be;#Leev 7:32 28era eneebeeranga ya Alooni n'abaana be ng'ekinaagwaniranga abaana ba Isiraeri emirembe gyonna, kubanga kye kiweebwayo ekisitulibwa; era eneebeeranga ekiweebwayo ekisitulibwa abaana ba Isiraeri gye bawa mu ssaddaaka zaabwe ez'ebiweebwayo olw'emirembe, kye kiweebwayo kyabwe ekisitulibwa eri Mukama.”#Leev 7:34
29“N'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni binaabeeranga by'abaana be abalimuddirira, okutukulizibwangamu n'okwawulirwangamu.#Kubal 20:26,28 30Omwana alimuddirira okuba kabona anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw'anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu okuweereza mu kifo ekitukuvu.”
31“Era olitwala endiga ey'okutukuza, n'ofumbira ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu. 32Ne Alooni n'abaana be balirya ennyama y'endiga n'emigaati egiri mu kabbo, mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 33Era balirya ebiweereddwayo olw'okutangirira, okubatukuza n'okubalongoosa; naye munnaggwanga tabiryangako, kubanga bitukuvu.#Leev 10:14,15; 22:10 34Era bwe walisigalawo ku nnyama ey'okutukuza oba ku migaati okutuusa enkya, olibyokya n'omuliro; tebiririibwa, kubanga bitukuvu.”
35“Bw'olikola bw'otyo Alooni n'abaana be, nga byonna bye nkulagidde; olibatukuliza ennaku musanvu. 36Era onoowangayo buli lunaku ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi olw'okutangirira; era onoolongoosanga ekyoto, bw'onookikoleranga eky'okutangirira; era onookifukangako amafuta, okukitukuza. 37Onookikoleranga ekyoto eky'okutangirira ennaku musanvu, n'okitukuzanga; era ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo; buli ekinaakomanga ku kyoto kinaabanga kitukuvu.”#Mat 23:19
38“Kale by'onoowangayo ku kyoto bye bino; abaana b'endiga babiri abaakamala omwaka ogumu buli lunaku obutayosa.#Kubal 28:3, 1 Byom 16:40, 2 Byom 2:4, Ezer 3:3, Beb 10:11 39Enkya onoowangayo omwana gw'endiga ogumu; n'akawungeezi onoowangayo omwana gw'endiga ogwokubiri.#Zab 141:2, Ez 46:13 40Era awamu n'omwana gw'endiga omulala onoowangayo ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu ekyokuna ekya yini eky'amafuta amakube; n'ekitundu ekyokuna ekya yini eky'envinnyo okuba ekiweebwayo eky'okunywa. 41N'omwana gw'endiga omulala onooguwangayo akawungeezi, era onoogukolanga nga bwe wakola ekiweebwayo eky'obutta eky'enkya, n'ekiweebwayo eky'okunywa eky'enkya, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.#1 Bassek 18:29, Ezer 9:4,5 42Kinaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; awo wenaabasisinkaniranga okwogera nammwe.#Kuv 25:22, Kubal 28:6 43Era awo we nnaasisinkaniranga n'abaana ba Isiraeri; n'eweema eritukuzibwa n'ekitiibwa kyange.#Kuv 40:34, Leev 9:23, Kubal 14:10; 16:19,42; 20:6, 1 Bassek 8:11, 2 Byom 5:14; 7:1-3, Ez 43:5, Kag 2:7,9 44Era nditukuza eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto; ne Alooni n'abaana be ndibatukuza, okumpeererezanga mu bwakabona.#Leev 21:15; 22:9,16 45Era nnaatuulanga mu baana ba Isiraeri, era nnaabeeranga Katonda waabwe. 46Nabo banaategeeranga nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke ntuule mu bo; Nze Mukama Katonda waabwe.”#Kuv 25:8
Currently Selected:
Okuva 29: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: