YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 26

26
1“Era olikola eweema n'emitanda kkumi (10); ne bafuta erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi oligikola.#Beb 9:2 2Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono abiri mu munaana (28), n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna giribeera gya kigero kimu. 3Emitanda etaano girigattibwa gyokka na gyokka; n'emitanda etaano girigattibwa gyokka na gyokka. 4Era olikola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte; era bw'otyo bw'olikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 5Olikola eŋŋango ataano (50) ku mutanda gumu, era olikola eŋŋango ataano (50) ku lukugiro lw'omutanda ogw'omu migatte egy'okubiri; eŋŋango ziritunuuliragana zokka na zokka. 6Era olikola ebikwaso ataano (50) ebya zaabu, ogatte emitanda gyokka na gyokka n'ebikwaso; eweema eribeera emu.
7“Era olikola emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema; oligikola emitanda kkumi na gumu (11). 8Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono asatu (30), n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena; emitanda kkumi na gumu (11) giribeera gya kigero kimu. 9Era oligatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka, era olifunyamu mu mutanda ogw'omukaaga mu maaso g'eweema. 10Era olikola eŋŋango ataano (50) ku lukugiro lw'omutanda gumu ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango ataano (50) ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 11Era olikola ebikwaso ataano (50) eby'ekikomo, oliteekamu ebikwaso mu ŋŋango, oligatta eweema, ebeere emu. 12N'ekitundu eky'emitanda gy'eweema ekifikkawo ekireebeeta, ekitundu kimu eky'omutanda ekifikkawo, kirireebeetera emabega w'eweema. 13N'omukono ogw'okuluuyi luno, n'omukono ogw'okuluuyi luli, ogufikkawo mu buwanvu bw'emitanda gy'eweema, gulireebeeta ku mbiriizi z'eweema eruuyi n'eruuyi, okugibikka. 14Era olikola ku weema n'amaliba g'endiga eza sseddume amannyike amamyufu, ne kungulu eky'okugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge.”
15“Era olikola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, ziyimirire. 16Emikono kkumi bwe bulibeera obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu bwe bulibeera obugazi bwa buli lubaawo. 17Mu buli lubaawo mulibeera ennimi bbiri, ezigattibwa zokka na zokka; bw'otyo bw'olikola ku mbaawo zonna ez'eweema. 18Era olikola embaawo ez'eweema, embaawo abiri (20) ez'oluuyi lw'obukiikaddyo mu bukiikaddyo. 19Era olikola ebinnya ebya ffeeza ana (40) wansi w'embaawo abiri (20); ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri; 20era ez'oluuyi olwokubiri olw'eweema, ku luuyi lw'obukiikakkono, embaawo abiri (20); 21n'ebinnya byazo ebya ffeeza ana (40); ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu; n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. 22N'ez'oluuyi lw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba, olikola embaawo mukaaga. 23Era olikola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega. 24Ziriba bbiri wansi, bwe zityo bwe ziriba ennamba waggulu waazo, okutuuka ku mpeta esooka; bwe zityo bwe ziriba zombi; ziribeera ez'ensonda ebbiri. 25Era waliba embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga (16); ebinnya ebibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. 26Era olikola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi olumu olw'eweema, 27n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olwokubiri olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olw'eweema ku luuyi olw'emabega, olw'ebugwanjuba. 28N'omuti ogwa wakati w'embaawo guyitemu eruuyi n'eruuyi. 29N'embaawo olizibikkako zaabu, era olikola empeta zaazo za zaabu omwokuteekera emiti: n'emiti oligibikkako zaabu. 30Era olizimba eweema mu ngeri yaayo gye walagibwa ku lusozi.”
31“Era olikola eggigi erya kaniki, n'ery'olugoye olw'effulungu, n'ery'olumyufu, n'erya bafuta ennungi erangiddwa; ne bakerubi omulimu ogw'abakozi ab'amagezi bwe lirikolebwa;#2 Byom 3:14, Mat 27:51, Beb 9:3 32era oliriwanika ku mpagi nnya ez'omuti gwa sita ezibikkiddwako zaabu, ebikwaso byazo biribeera bya zaabu, ku binnya bina ebya ffeeza. 33Era oliwanika eggigi wansi w'ebikwaso, n'essanduuko ey'obujulirwa oligiyingiza eri munda w'eggigi; n'eggigi liryawulamu eri mmwe awatukuvu n'awasinga obutukuvu.#Leev 16:2 34Era oliteeka entebe ey'okusaasira ku ssanduuko ey'obujulirwa mu wasinga obutukuvu.#Beb 9:5 35N'emmeeza oligiteeka ebweru w'eggigi, n'ekikondo mu maaso g'emmeeza ku luuyi olw'eweema olw'obukiikaddyo; n'emmeeza oligiteeka ku luuyi olw'obukiikakkono.”
36“Era olikola oluggi olw'omulyango ogw'eweema, olwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza. 37Era olikola empagi ttaano ez'omuti gwa sita ez'oluggi, olizibikkako zaabu; ebikwaso byazo biribeera bya zaabu; era olizifumbira ebinnya bitaano eby'ekikomo.”

Currently Selected:

Okuva 26: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in