Okuva 2
2
Okuzaalibwa kwa Musa
1Awo omusajja ow'omu kika kya Leevi n'agenda n'awasa omukazi ow'omukika kya Leevi.#Kuv 6:20, Kubal 26:59 2Omukazi n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi; naye bwe yamulaba nga mulungi, n'amukwekera emyezi esatu.#Bik 7:20, Beb 11:23 3Awo bw'ataayinza kwongera kumukweka, n'aleeta ekibaya eky'ebitoogo n'akisiiga ettosi n'envumbo; omwana n'amuteeka munda, n'akiteeka mu kitoogo ku lubalama lw'omugga. 4Mwannyina w'omwana n'ayimirira walako alabe, ekinaamutuukako.#Kuv 15:20, Kubal 26:59 5Awo muwala wa Falaawo n'aserengeta ku mugga okunaaba; abazaana be ne batambula ku lubalama lw'omugga; ye n'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta. 6Muwala wa Falaawo n'akisumulula, n'alaba omwana; omwana n'akaaba. N'amusaasira, n'agamba nti, “Ono ye omu ku baana b'Abaebbulaniya.” 7Awo mwannyina w'omwana n'agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi mu bakazi Abaebbulaniya akuyonseze omwana oyo?” 8Muwala wa Falaawo n'amugamba nti, “Kale genda.” Omuwala n'agenda n'amuyitira nnyina w'omwana. 9Muwala wa Falaawo n'amugamba nti, “Twala omwana ono omunnyonseze, nange ndikuwa empeera yo.” Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa. 10Awo omwana bwe yakula, n'amuleetera muwala wa Falaawo, n'amufuula omwana we, n'amutuuma erinnya Musa.#2:10: Musa Mu Lwebbulaniya litegeeza “Okuggya mu mazzi.”#Bik 7:21
Musa addukira e Midiyaani
11Lwali lumu, Musa ng'amaze okukula, n'agenda eri baganda be Abaebbulaniya; n'alaba okutuntuzibwa kwabwe. N'alaba Omumisiri ng'akuba Omwebbulaniya, ow'omu baganda be.#Bik 7:23, Beb 11:24 12N'amagamaga eruuyi n'eruuyi n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka atta Omumisiri, n'amukweka mu musenyu.#Bik 7:24 13Awo ku lunaku olwokubiri n'addayo, n'alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana, n'agamba oyo eyakola obubi nti, “Kiki ekikukubizza munno?” 14Omusajja n'amuddamu nti, “Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe wasse Omumisiri?” Musa n'atya n'agamba mu mutima gwe nti, “Mazima abantu baategedde kye nnakoze.” 15Awo Falaawo bwe yawulira ekigambo ekyo, n'ayagala okutta Musa. Naye Musa n'adduka Falaawo, n'abeera mu nsi ya Midiyaani.#Lub 24:11, Bik 7:29 16Awo lwali lumu, Musa bwe yali ng'atudde okumpi n'oluzzi, abawala musanvu (7) aba kabona w'e Midiyaani ne bajja okusena amazzi, ne bajjuza ebyesero okunywesa endiga n'embuzi za kitaabwe.#Lub 29:2, Kuv 3:1, 1 Sam 9:11 17Abasumba ne bajja ne babagoba; naye Musa n'asituka n'abayamba, n'anywesa ekisibo kyabwe.#Lub 29:10 18Bwe bajja eri Leweri kitaabwe, n'ayogera nti, “Nga mukomyewo mangu leero?”#Kubal 10:29 19Ne boogera nti, “Omuntu Omumisiri yatuwonyezza mu mikono gy'abasumba, n'atusenera amazzi, n'anywesa ekisibo.” 20N'agamba bawala be nti, “Ali ludda wa? Kiki ekibalesezzaayo omuntu oyo? Mumuyite ajje alye ku emmere.”#Lub 31:54 21Musa n'akkiriza okubeera ne Leweri; n'awa Musa, muwala we Zipola. 22Zipola n'azaala omwana ow'obulenzi, Musa n'amutuuma erinnya Gerusomu;#2:22: Gerusomu Mu Lwebbulaniya litegeeza omugenyi oba Omugwira. kubanga yagamba nti, “Nali mugenyi mu nsi etali yange.”#Kub 18:3, Bik 7:29
23Nga wayiseewo emyaka mingi, kabaka w'e Misiri n'afa, naye abaana ba Isiraeri ne basigala nga basinda olw'obuddu bwabwe, ne bakaaba, n'okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda.#Kuv 3:9; 7:7, Ma 26:7 24Katonda n'awulira okusinda kwabwe, n'ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.#Lub 28:13, Kuv 6:5, Zab 105:42 25Katonda n'alaba okubonaabona kw'abaana ba Isiraeri, n'abasaasira.#Kuv 3:7; 4:31
Currently Selected:
Okuva 2: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: