YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 13

13
1Mukama n'agamba Musa, ng'ayogera nti, 2“Onterekeranga abaana ababereberye bonna, buli aggula enda mu baana ba Isiraeri, oba wa muntu oba wa nsolo, ye wange.”#Kuv 13:12-15; 22:29,30; 34:19, Leev 27:26, Kubal 3:13; 8:16,17; 18:15, Ma 15:19, Luk 2:23
3Musa n'agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, lwe mwaviiramu mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu; kubanga n'omukono ogw'amaanyi Mukama yabaggya mu kifo ekyo; tebalyanga ku migaati egizimbulukusibbwa.#Kuv 3:19; 12:15,42; 13:9,14,16, Ma 16:3 4Ku lunaku luno, mu mwezi ogwa Abibu lwe munaavaamu.#Kuv 23:15; 34:18, Ma 16:1 5Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi y'omu Kanani n'ey'Omukiiti n'ey'omu Amoli, n'ey'Omukiivi, n'ey'omu Yebusi, gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki, oneekuumanga okuweereza kuno mu mwezi guno.#Kuv 3:8; 6:8; 33:1,2 6Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukusiddwa, era ku lunaku olw'omusanvu; wanaabanga embaga eri Mukama.#Kuv 12:15,16 7Emigaati egitazimbulukusiddwa giriibwe mu nnaku ezo omusanvu; so tegiirabikenga gy'oli emigaati egizimbulukusibbwa, so tekirirabika ekizimbulukusa gy'oli, mu nsalo zo zonna. 8Era onoomugambanga omwana wo ku lunaku luli nti, ‘kino nkikola olw'ebyo mukama bye yankolera bwe nnava mu Misiri.’#Kuv 12:26,27 9Era ginaakubeereranga akabonero ku mukono gwo, era ekijjukizo mu kyenyi kyo, amateeka ga Mukama galyoke gabeere mu kamwa ko; kubanga n'omukono ogw'amaanyi Mukama yakuggya mu Misiri.#Kuv 12:14, Ma 6:8; 11:18 10Kyonoovanga weekuuma etteeka lino mu biro byalyo buli mwaka, buli mwaka.
11“Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi ey'omu Kanani, nga bwe yakulayirira ggwe ne bajjajjaabo, bw'aligikuwa, 12onoomuterekeranga Mukama buli kiggulanda, na buli kibereberye ky'olina ekiva mu nsolo; abasajja banaabanga ba Mukama.#Kuv 13:2 13Era onoonunulanga buli mbereberye y'endogoyi n'omwana gw'endiga; era oba nga tooyagalenga kuginunula, onooginyoolanga ensingo; era ababereberye bonna mu baana bo onoobanunulanga.#Kuv 34:20, Kubal 18:15 14Awo omwana wo bw'anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng'ayogera nti, ‘Kiki kino?’ Onoomugambanga nti, ‘Mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggyira mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.#Kuv 12:26,27 15Awo olwatuuka, olw'empaka za Falaawo, bwe yagaanira ddala okutuleka, Mukama kwe kutta ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, ababereberye ab'abantu, era n'embereberye ez'ensolo; Mukama kyenva mmuwa buli kiggulanda ekisajja okuba ssaddaaka, naye ababereberye b'abaana baffe bonna tubanunula.’ 16N'ekyo kinaabanga akabonero ku mukono gwo, oba mu kyenyi kyo; kubanga mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggyira mu Misiri.”#Kuv 13:9,14
17Awo Falaawo ng'amaze okubaleka abantu, Katonda n'atabatwala mu kkubo ery'ensi ery'Abafirisuuti newakubadde nga lye lyali okumpi; kubanga Katonda yayogera nti, “Wozzi abantu baleme okwejjusa bwe baliraba okulwana, baleme okudda e Misiri.”#Kuv 14:10-12, Kubal 14:1-4 18Naye Katonda neyeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu, ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu; abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina eby'okulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri.#Kuv 14:2, Kubal 33:6,8,10,11 19Musa n'atwala amagumba ga Yusufu wamu naye; kubanga yabalayiriza ddala abaana ba Isiraeri, ng'ayogera nti, “Katonda talirema kubalabikira; nammwe mulitwala amagumba gange okuva wano wamu nammwe.”#Lub 50:25 20Ne bava mu Sukkosi nga batambula, ne basula mu Yesamu ku nsalo y'eddungu.#Kubal 33:6 21Mukama n'abakulembera emisana mu mpagi ey'ekire okubalaga ekkubo, era n'ekiro mu mpagi ey'omuliro okubaakira; balyoke batambule emisana n'ekiro;#Kubal 14:14, Ma 1:33, Nek 9:12,19, Zab 78:14, 1 Kol 10:1 22empagi ey'ekire emisana, n'empagi ey'omuliro ekiro, tezaavanga mu maaso g'abantu.

Currently Selected:

Okuva 13: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in