Okuva 13:17
Okuva 13:17 LBR
Awo Falaawo ng'amaze okubaleka abantu, Katonda n'atabatwala mu kkubo ery'ensi ery'Abafirisuuti newakubadde nga lye lyali okumpi; kubanga Katonda yayogera nti, “Wozzi abantu baleme okwejjusa bwe baliraba okulwana, baleme okudda e Misiri.”





