Okuva 11:5-6
Okuva 11:5-6 LBR
n'ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri balifa, okuva ku mubereberye wa Falaawo atuula ku ntebe ey'obwakabaka okutuusa ku mubereberye w'omuzaana asa ku lubengo; n'ebibereberye byonna eby'ebisibo. Era walibeera okukaaba okungi mu nsi yonna ey'e Misiri, okutabangawo era okutaliddamu kubaawo nga kuno nate.





