Okuva 10:21-23
Okuva 10:21-23 LBR
Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza kibeere ku nsi ey'e Misiri, ekizikiza ekikutte bezzigizigi.” Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu; ekizikiza ekikutte ne kiba ku nsi yonna ey'e Misiri okumala ennaku ssatu. Abamisiri nga tebasobola kulabagana, era tewali yasobola okuva mu kifo mwe yali okumala ennaku ssatu, naye abaana ba Isiraeri bonna baalina ekitangaala yonna gye baali.





