Okuva 10:13-14
Okuva 10:13-14 LBR
Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga ku nsi ezaava ebuvanjuba ku lunaku olwo, ezaakunta emisana n'ekiro; bwe bwakya enkya, embuyaga ezaava ebuvanjuba zaali zireese enzige. Enzige ne zigwa ku nsi yonna ey'e Misiri, zaali nnyingi nnyo, ezitalabwangako okuva edda n'edda lyonna, wadde oluvannyuma lwazo.





