YouVersion Logo
Search Icon

Omubuulizi 9

9
Okufa kutuuka ku bonna
1Kubanga ebyo byonna n'abiteeka ku mutima gwange, okuketta ebyo byonna; ng'abatuukirivu n'abagezigezi n'emirimu gyabwe bali mu mukono gwa Katonda; oba nga kwagala oba nga kukyawa omuntu takumanyi, byonna ebiri mu maaso gaabwe butaliimu.#Ma 33:3 2Olw'okubanga byonna byenkana ebijjira bonna, waliwo ekigambo ekimu eri omutuukirivu n'omubi; eri omulungi n'eri atali mulungi, eri omulongoofu n'atali mulongoofu; eri oyo asala ssaddaaka n'eri oyo atasala ssaddaaka. Nga omulungi bw'ali, n'alina ebibi bw'ali bw'atyo; n'oyo alayira ali ng'oyo atya ekirayiro.#2 Sam 20:15,16,22 3Ekyo kibi mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba, ng'ekigambo ekimu ekibajjira bonna; weewaawo, era omutima gw'abaana b'abantu bonna gujjudde obubi, era eddalu liri mu mutima gwabwe nga bakyali balamu, awo oluvannyuma, lw'ekyo ne badda mu bafu. 4Kubanga eri oyo agattibwa n'abalamu, oyo aba n'essuubi, kubanga era n'embwa ennamu ekira empologoma enfu obulungi. 5Kubanga abalamu bamanyi nga balifa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi, era tebakyalinayo mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa.#Yob 14:21, Zab 31:12; 88:12, Mub 1:11, Is 26:14 6Okwagala kwabwe, n'okukyawa kwabwe, n'obuggya bwabwe byonna bizikiridde, so nga tebakyalina mugabo ennaku zonna mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba.
Okusanyukira obulamu nabo boyagala
7Genda, olyenga emmere yo ng'osanyuka, onywenga omwenge gwo n'omutima ogujaguza; kubanga Katonda amaze okukkiriza emirimu gyo.#Mub 8:15 8Ebyambalo byo bitukulenga ennaku zonna; so n'omutwe gwo tegubulwanga mafuta. 9Beeranga n'omukazi gw'oyagala n'essanyu ennaku zonna ez'obulamu bwo obutaliimu bw'akuwadde wansi w'enjuba, ennaku zo zonna ezitaliimu; kubanga ogwo gwe mugabo gwo mu bulamu, ne mu kutegana kwo kw'otegana wansi w'enjuba.#Mub 2:10; 7:15 10Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n'amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy'ogenda.#Bak 3:23
Amagezi gasinga obusirusiru
11Awo ne nzirayo ne ndaba wansi w'enjuba nga ab'embiro si be basinga empaka ez'embiro, so n'ab'amaanyi si be basinga okulwana, so n'abagezigezi si be bafuna emmere, so n'abantu abategeevu si be bafuna obugagga, so n'abakabakaba si be baganja; naye bonna bibagwira bugwizi ebiseera n'ebigambo.#1 Bassek 22:34, Yer 9:23, Am 2:14,15 12Kubanga n'omuntu tamanyi kiseera kye. Nga ebyennyanja ebikwatibwa mu mugonjo omubi, era ng'ennyonyi ezikwatibwa mu kakunizo, era bwe batyo abaana b'abantu bateegebwa mu kiseera ekibi, bwe kibagwira nga tebamanyiridde.#Nge 7:23, Mub 8:7, Luk 21:34, 1 Bas 5:3
13Era nnalaba amagezi wansi w'enjuba bwe ntyo, ne gafaanana nga mangi gye ndi. 14Waaliwo ekibuga ekitono n'abasajja abaali omwo nga si bangi; kabaka omukulu n'akitabaala, n'akizingiza, n'akizimbako enkomera ennene.#2 Sam 20:15,16,22 15Awo ne walabika mu kibuga omwo omusajja omwavu omugezigezi, oyo n'awonya ekibuga olw'amagezi ge; era naye ne wataba muntu ajjukira omusajja oyo omwavu. 16Kale ne njogera nti, Amagezi gasinga amaanyi obulungi, era naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, ebigambo bye ne batabiwulira.#Mub 7:19, Mak 6:2,3
17Ebigambo eby'abagezigezi ebyogerwa akasirise babiwulira okusinga okuleekaana kw'oyo afugira mu basirusiru. 18Amagezi gasinga eby'okulwanyisa, naye alina ebibi omu azikiriza ebirungi bingi.#Yos 7:1, 2 Bassek 17:21

Currently Selected:

Omubuulizi 9: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in