Omubuulizi 2
2
Amasanyu nago butaliimu
1Nnayogera mu mutima gwange nti, “Kale nno, naakukeema n'ebinyumu; kale beera n'essanyu.” Era, laba, n'ekyo nga bwe butaliimu.#Luk 12:19 2Nnayogera ku nseko nti, “Ziraluse,” ne ku binyumu nti, “Bikola ki?”#Nge 14:13 3Nnanoonya mu mutima gwange bwe mba nsanyusa omubiri gwange n'omwenge, era omutima gwange nga gukyannuŋŋamya n'amagezi, okulaba bwe mba nnyweza obusirusiru, ndyoke ntegeere ebisaanira abaana b'abantu okukola wansi w'eggulu ennaku zonna ez'obulamu bwabwe. 4Nneekolera emirimu eminene, nneezimbira ennyumba; nneesimbira ensuku ez'emizabbibu;#1 Bassek 7:1-12, Lu 8:11 5nneekolera ensuku n'ennimiro, ne nsimba omwo emiti egy'ebibala eby'engeri zonna.#Lu 4:16; 5:1 6Nneesimira ebidiba eby'amazzi, okugafukiriza ekibira emiti mwe gyasimbwa. 7Nnagula abaddu n'abazaana, ne nzaalirwa abaddu mu nnyumba yange, era nnalina obugagga bungi obw'ente n'embuzi, okusinga abo bonna abansooka mu Yerusaalemi.#Lub 14:14 8Nneekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu, n'obugagga obw'omu buli nsi obwa bakabaka n'obw'omu masaza; nneefunira abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi, n'ebisanyusa abaana b'abantu, n'abazaana bangi nnyo.#1 Bassek 4:21; 9:28; 10:15; 11:3, 2 Byom 35:25 9Kale ne mba mukulu, ne nneeyongera okusinga bonna abansooka mu Yerusaalemi; era amagezi gange ne gabeera nange.#1 Byom 29:25, Mub 1:16 10Na buli kintu amaaso gange kye geegombanga ssaakigamma; ssaaziyiza mutima gwange obutalaba ssanyu lyonna, kubanga omutima gwange gwasanyuka olw'emirimu gyange gyonna; era guno gwe gwali omugabo gwange ogwava mu mirimu gyange gyonna.#Mub 3:22 11Awo ne ndyoka ntunuulira emirimu gyonna emikono gyange gye gyali gikoze n'okutegana kwe nnategana okukola; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo, so nga tewali kintu kigasa wansi w'enjuba.#Mub 1:3,14
Obutaliimu obuva mu magezi
12Awo ne nkyuka okulaba amagezi n'eddalu n'obusirusiru; kubanga omuntu addirira kabaka ayinza kukola ki? Ayinza kukola ekyo ekyakolebwa edda.#Mub 1:9,17 13Awo ne ndaba ng'amagezi gasinga obusirusiru obulungi, era ng'omusana bwe gusinga ekizikiza. 14Omugezigezi amaaso ge gaba ku mutwe gwe, n'omusirusiru atambulira mu kizikiza; era naye ne ntegeera nga bonna ekigambo kimu ekibatuukako.#Nge 17:24, Mub 9:2 15Awo ne ŋŋamba mu mutima gwange nti, “Ekituuka ku musirusiru era kye kirituuka ku nze nange; kale musinga mu ki amagezi?” Kale ne njogera mu mutima gwange nga n'ekyo butaliimu. 16Kubanga n'omugezigezi era nga n'omusirusiru bwatyo tajjukirwa emirembe gyonna; kubanga mu biro ebigenda okujja byonna biriba nga byamala dda okwerabirwa. Era omugezigezi ng'afa okwenkana n'omusirusiru!#Mub 1:11 17Awo ne nkyawa obulamu; kubanga emirimu egikolebwa wansi w'enjuba gyantama; kubanga byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
Obutaliimu obw'okutegana
18Awo ne nkyawa okutegana kwange kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba, kubanga kiŋŋwanira okukulekera omusajja alinziririra.#Zab 39:6; 49:10 19Era ani amanyi oba ng'aliba mugezigezi oba musirusiru? Naye alifuga okutegana kwange kwonna kwe nnategana, era kwe nnayolesezaamu amagezi gange wansi w'enjuba. Era n'ekyo butaliimu.#1 Bassek 12:13,14 20Kye nnava nkyuka omutima gwange ne guggwaamu essuubi ery'okutegana kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba. 21Kubanga wabaawo omuntu okutegana kwe kulina amagezi n'okumanya n'obukabakaba; naye omuntu atategananga mu byo gw'alikulekera okuba omugabo gwe. Era n'ekyo butaliimu na kabi kanene. 22Kubanga omuntu afuna ki olw'okutegana kwe kwonna n'olw'okufuba kw'omutima gwe kw'ategana wansi w'enjuba?#Mub 1:3 23Kubanga ennaku ze zonna buyinike bwereere, n'okufuba kwe kunakuwala; weewaawo, ne mu kiro omutima gwe tegubaako bwe guwummula. Era n'ekyo butaliimu.#Yob 5:7, Mub 1:13
Obutaliimu bw'okulya
24Tewali kintu ekigasa omuntu okusinga okulya n'okunywa n'okuliisa emmeeme ye ebirungi ebiva mu kutegana kwe. Era n'ekyo nnakiraba nga kiva eri omukono gwa Katonda.#Mub 5:18,19; 9:7 25Kubanga ani ayinza okulya, oba ani ayinza okuba n'essanyu okukira nze? 26Kubanga omuntu asanyusa Katonda; Katonda gw'awa amagezi n'okumanya n'essanyu; naye alina ebibi amuwa okutegana, akuŋŋaanye atuume entuumo, awe oyo asanyusa Katonda. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.#Yob 27:16,17; 32:8
Currently Selected:
Omubuulizi 2: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: