YouVersion Logo
Search Icon

Ekyamateeka Olwokubiri 9

9
1“Muwulire, Mmwe abaana ba Isiraeri: Leero mugenda kusomoka Yoludaani, okuyingira okuwangula amawanga agabasinga obunene n'amaanyi, ebibuga ebinene ebyazimbibwako ebigo ebigulumivu ennyo;#Kubal 13:28, Ma 1:28; 4:38 2abantu abanene, abawanvu, abaana b'Anaki, be mumanyi, era be mwawulirako nga boogerwako nti, ‘Ani ayinza okubaŋŋaanga?’ 3Kale mumanye leero nga Mukama Katonda wammwe ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya buli kintu; alibazikiriza, era alibamegga mu maaso gammwe; bwe mutyo bwe mulibagobamu, ne mubazikiriza mangu, nga Mukama bwe yabagamba#Ma 4:24; 7:24; 31:3, Yos 3:11 4Mukama Katonda wammwe bw'alimala okubagoba mu maaso gammwe, temwogeranga mu mitima gyammwe nti, Tuwangudde ensi eno olw'obutuukirivu bwaffe; kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama ky'ava agagoba mu maaso go.#Leev 18:24,25, Ma 8:17; 18:12 5Si lwa butuukirivu bwammwe so si lwa bugolokofu bwa mitima gyammwe, kyemuva muyingira okutwala ensi yaabwe: naye olw'obubi bw'amawanga ago, Mukama Katonda wammwe kyava agagoba mu maaso gammwe, alyoke anyweze ekigambo kye yalayirira bajjajjammwe, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.#Lub 50:24, Kuv 32:13 6Kale mutegeere nga Mukama Katonda wammwe tabawa nsi eno nnungi kugitwala lwa butuukirivu bwammwe; kubanga muli ggwanga eririna emputtu.”#Kuv 32:9
7“Mujjukire temwerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wammwe mu ddungu; kubanga okuva ku lunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino, mujeemera Mukama.#Kuv 14:11; 15:24, Kubal 11:4; 14:2, Ma 31:27 8Era ne ku lusozi Kolebu mwasunguwaza Mukama, n'abanyiigira, era katono abazikirize.#Kuv 32:1-4, Zab 106:19 9Bwe nnalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja eby'endagaano Mukama gye yalagaana nammwe, n'amalayo ennaku ana (40) emisana n'ekiro nga ssirya mmere so nga ssinywa mazzi.#Kuv 24:12,15,18; 34:28 10Mukama n'ampa ebipande bibiri eby'amayinja ye yennyini byeyawandiikako n'engalo ye; bye bigambo byonna bye yayogera nammwe ku lusozi ng'asinziira wakati mu muliro, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako.#Kuv 19:17; 31:18 11Awo olwatuuka ennaku ana (40) bwe zaayitawo emisana n'ekiro, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano. 12Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka ove wano, oserengete mangu; kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaananyi ekisaanuuse.’#Kuv 32:7-10,15-19 13Era Mukama ne yeeyongera n'aŋŋamba nti, ‘Ndabye eggwanga lino, era, laba, lye ggwanga eririna emputtu; 14ndeka mbazikirize, nsangule erinnya lyabwe okuva ku nsi; naye ggwe ndikufuula eggwanga eribasinga amaanyi n'obukulu.’#Kubal 14:12, Ma 7:24 15Awo ne nkyuka ne nva ku lusozi, nga lukyayaka omuliro, era n'ebipande eby'endagaano byombi nga biri mu mikono gyange gyombi. 16Ne ntunula, era, laba, mwali mumaze okusobya ku Mukama Katonda wammwe; nga mwekoledde ennyana ensaanuuse, nga mumaze okukyama amangu ago okuva mu kkubo Mukama lye yabalagira. 17Ne nkwata ebipande byombi ebyali mu mikono gyange, ne mbikasuka ku ttaka ne bimenyekeramenyekera mu maaso gammwe. 18Ne nvuunama mu maaso ga Mukama, ng'olubereberye, okumala ennaku ana (40) emisana n'ekiro nga ssirya mmere era nga ssinywa mazzi olw'okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona, nga mukola ebibi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza.#Kuv 32:31, Ma 10:10, Zab 106:23 19Kubanga nnatya obusungu n'ekiruyi kya Mukama bwe yali ng'amaliridde okubazikiriza. Naye Mukama n'ampulira ne ku mulundi ogwo.#Kuv 32:14 20Era Mukama n'asunguwalira nnyo Alooni n'ayagala okumuzikiriza; wabula ne musabira nnyo mu kiseera ekyo. 21Ne nzirira ekibi kyammwe, ye nnyana gye mwali mukoze, ne ngyokya omuliro, ne ngisambirira, ne ngisekulasekula nnyo, okutuusa lwe yafuuka ng'enfuufu; enfuufu eyo ne ndyoka ngiyiwa mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi.”#Kuv 32:20
22“Era n'e Tabera, n'e Masa, n'e Kiberosukataava nayo mwasunguwalizaayo Mukama.#Kuv 17:7, Kubal 11:1-3,34 23Era Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesubanea, ng'ayogera nti, ‘Mwambuke mutwale ensi gye mbawadde;’ mwajeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, so temwamukkiriza, so temwawulira ddoboozi lye.#Kubal 13:3; 14:1, Zab 78:22; 106:24,25 24Okuva ku lunaku lwe nnabamanya mubadde mujeemera Mukama.”#Ma 31:27
25“Awo ne nvuunama mu maaso ga Mukama ennaku ana (40) emisana n'ekiro; kubanga Mukama yali ayogedde nga bw'agenda okubazikiriza. 26Ne nsaba Mukama nga njogera nti, Ayi Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo era obusika bwo, be wanunula olw'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi.#Kuv 32:11-13 27Jjukira abaddu bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo; totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano newakubadde obubi bwabwe newakubadde okwonoona kwabwe; 28ensi gye watuggyamu ereme okwogera nti, Kubanga Mukama teyasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era kubanga yabakyawa, kyeyava abatwala mu ddungu okubatta.#Kubal 14:16, Ma 32:26,27 29Naye be bantu bo, era bwe busika bwo, be waggya mu Misiri n'obuyinza bwo obungi era n'omukono gwo ogw'amaanyi.”#Ma 4:20

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in