Ekyamateeka Olwokubiri 6:1-2
Ekyamateeka Olwokubiri 6:1-2 LBR
“Kale gano ge mateeka n'ebiragiro, Mukama Katonda wammwe bye yalagira okubayigiriza, mulyoke mubikolenga mu nsi, gye mugenda okubeeramu nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani. Mmwe n'abaana bammwe era ne bazzukulu bammwe, mussengamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa obulamu bwammwe bwonna. Mutuukirizenga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye bye mbawa, mulyoke muwangaale ennaku nnyingi.





