2 Abasessaloniika 2
2
Olunaku lw'okujja kwa Mukama waffe
1Kaakano ebikwata ku kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okukuŋŋaana kwaffe okumusisinkana, tubeegayirira ab'oluganda,#1 Bas 4:13-17 2obutasagaasagana mangu mu magezi gammwe, newakubadde okweraliikirira newakubadde olw'omwoyo, newakubadde olw'ebbaluwa efaanana ng'evudde gyetuli, nti olunaku lwa Mukama waffe lutuuse. 3Omuntu yenna tabalimbanga mu kigambo kyonna kyonna; kubanga olunaku olwo terulijja wabula ng'okwawukana kuli kumaze kubaawo, era omuntu oli ow'okwonoona nga alimala okubikkulwa, omwana w'okuzikirira,#1 Tim 4:1, Yok 17:12, 1 Yok 2:18; 4:3 4aziyiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa, n'okutuula n'atuula mu Yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yekka nti ye Katonda.#Dan 11:36, Ez 28:2 5Temujjukira, nga bwe nnali nga nkyali gye muli, nnababuulira ebyo? 6Era ne kaakano ekirobera mukimanyi, alyoke abikkulwe mu ntuuko ze. 7Kubanga ne kaakano ekyama eky'obujeemu weekiri kikola, wabula kyokka aziyiza kaakano okutuusa lw'aliggibwawo.#Bik 20:29 8Awo omujeemu oli n'alyoka abikkulwa, Mukama waffe Yesu gw'alitta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era gw'alizikiriza n'okulabisibwa kwe n'okujja kwe.#Is 11:4, Yob 4:9, Kub 19:15,20 9Naye okujja kw'oyo atakwata mateeka, olw'okukola kwa Setaani kulijja n'amaanyi gonna n'obubonero n'eby'amagero eby'obulimba,#Mat 24:24, Kub 13:11-13 10n'okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu eri abo ababula; kubanga bagaana okwagala amazima, balyoke balokoke.#2 Kol 2:15; 4:3 11Katonda kyava abasindikira okukyamya okw'amaanyi, bakkirize eby'obulimba,#2 Tim 4:4 12bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu.
Mwalondebwa olw'obulokozi
13Naye kitugwanidde ffe okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda abaagalwa Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye mu kutukuzibwa Omwoyo n'okukkiriza amazima.#Bef 1:4, Ma 33:12, 1 Bas 2:13; 4:7 14Kino yakibayitira okuyita mu njiri yaffe, mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.#1 Bas 4:7; 5:9 15Kale nno, ab'oluganda, muyimirirenga, era munywezenga bye mwaweebwa ne muyigirizibwa, oba mu kigambo oba mu bbaluwa yaffe.
16Naye Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala n'atuwa okusanyusa okutaggwaawo n'essuubi eddungi mu kisa,#1 Bas 3:11-13 17abasanyuse emitima gyammwe aginywezenga mu buli kikolwa n'ekigambo ekirungi.
Currently Selected:
2 Abasessaloniika 2: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: