2 Samwiri 7
7
Obubaka bwa Nasani eri Dawudi
1Awo olwatuuka kabaka bwe yatuula mu nnyumba ye, era Mukama ng'amuwadde okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola,#1 Byom 17:1-27, Ma 12:10; 25:19, 1 Bassek 5:4 2awo kabaka n'agamba Nasani nnabbi nti, “Laba nno, nze nsula mu nnyumba ey'emivule naye nga essanduuko ya Mukama nga eri mu weema.” 3Awo Nasani n'agamba kabaka nti, “Genda okole byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Mukama ali naawe.” 4Awo olwatuuka ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Nasani nti, 5“Genda ogambe omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba gyendibeeramu?’#1 Bassek 8:16,27, Is 66:1, Bik 7:48 6Kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe n'aggya abaana ba Isiraeri mu Misiri, n'okutuusa leero, naye natambuliranga mu weema.#Kuv 40:18,19,21,34, 1 Bassek 8:16 7Mu bifo byonna mwe n'atambulira n'abaana ba Isiraeri, nali njogedde ekigambo n'ekika kyonna ekya Isiraeri, kye nalonda okukulembera abantu bange Isiraeri, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule?#Leev 26:11,12, Ma 23:14, 2 Sam 5:2 8Kale nno bw'otyo bw'oba ogamba omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nnakuggya ku kisibo ky'endiga, ng'ogoberera endiga, obeere omukulu w'abantu bange, owa Isiraeri;#1 Sam 16:11, Zab 78:70 9era nabanga naawe buli gye wagendanga, era nzikirizza abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya ekkulu ng'erinnya bwe liri ery'abakulu abali mu nsi.#1 Sam 18:14, 2 Sam 5:10; 8:6,14, Zab 89:27 10Era nditeekerawo abantu bange Isiraeri ekifo, ne mbasimba batuulenga mu kifo kyabwe bo, ne batajjulukuka nate; so n'abaana b'obubi nga tebakyababonyaabonya ng'olubereberye,#2 Bassek 21:8, Zab 89:22 11era ng'okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange; era ndikuwa okuwummula eri abalabe bo bonna. Era Mukama nate akubuulira nti alikwaza.#2 Sam 7:1,27, 1 Bassek 11:38 12Ennaku zo bwe ziriba nga zituukiridde naawe nga weebakidde wamu ne bajjajjaabo, ndissaawo omu ku baana bo okuba kabaka era ndinyweza obwakabaka bwe.#1 Bassek 1:21; 2:10; 8:20, Zab 132:11, Luk 1:32, Bik 2:30; 13:23,36, Bar 1:3 13Oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ennaku zonna.#1 Bassek 5:5; 8:19, 1 Byom 22:10, Zab 89:26,27,32,33, Beb 1:5 14Ndiba kitaawe, ye n'aba mwana wange. Bw'anakolanga ekitali kituufu, naamukangavvulanga ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we; 15naye okusaasira kwange tekuumuvengako, nga bwe nnakuggya ku Sawulo, gwe nnaggyawo mu maaso go;#1 Sam 13:14; 15:23,28, 1 Bassek 11:13,34, 2 Sam 23:5 16N'ennyumba yo n'obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso go; entebe yo erinywezebwa ennaku zonna.’ ”#Zab 89:36,37, Luk 1:32,33 17Awo ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri n'okwolesebwa okwo kwonna, bw'atyo Nasani bwe yabibuulira Dawudi.
Dawudi yeebaza Mukama
18Awo Dawudi kabaka n'alyoka ayingira n'atuula mu maaso ga Mukama; n'ayogera nti, “Nze ani, ayi Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano?#Lub 32:10, 1 Sam 9:21; 18:18 19Naye n'ekyo Ayi Mukama Katonda kikyali kitono mu maaso go, kubanga era osuubiza bingi ezzadde lyange. Ayi Mukama Katonda era n'ekyo okimanyisizza.#2 Sam 7:12,13 20Era kiki ekirala nate, nze Dawudi ky'enyinza okukugamba? Kubanga Ayi Mukama Katonda omanyi omuddu wo. 21Olw'ekigambo kyo era ng'omutima gwo gwe bwe guli kyovudde okola ebikulu ebyo byonna, n'otegeeza omuddu wo. 22Ky'obeeredde omukulu, ayi Mukama Katonda; kubanga tewali akwenkana, so tewali Katonda mulala wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twakawulira n'amatu gaffe.#Kuv 15:11, Ma 3:24, 2 Byom 2:5, Zab 44:1; 86:8,10; 89:6,8; 96:4; 135:5, Is 45:5, Yer 10:6, 1 Kol 8:5,6 23Era ggwanga ki mu nsi erifaanana abantu bo Isiraeri, Katonda be yenunulira okuba abantu be! Ebintu ebikulu eby'entiisa bye wa bakolera byayatikiriza erinnya lyo mu nsi yonna. Wagoba ab'amawanga amalala ne bakatonda baabwe.#Ma 4:7,34; 9:26; 10:21; 33:29, Nek 1:10, Zab 147:20 24Bo Abaisiraeri n'obafuula abantu bo emirembe gyonna; naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe.#Kuv 6:7, Ma 26:18 25Era kaakano, ayi Mukama Katonda, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinyweze ennaku zonna, era kola nga bw'oyogedde. 26Era erinnya lyo ligulumizibwe ennaku zonna, nga boogera nti, ‘Mukama ow'eggye ye Katonda afuga Isiraeri, n'ennyumba ey'omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.’ 27Kubanga ggwe, ayi Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, obikkulidde omuddu wo, ng'oyogera nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba;’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋaanga okukusaba okusaba kuno.#2 Sam 7:11 28Era nno, ayi Mukama Katonda, ggwe Katonda, n'ebigambo byo mazima, era osuubizizza omuddu wo ekigambo ekyo ekirungi;#Kubal 23:19, Yok 17:17 29kale nno kkiriza okuwa omukisa ennyumba ey'omuddu wo, ebeerenga mu maaso go ennaku zonna; kubanga ggwe, ayi Mukama Katonda, okyogedde, era ennyumba y'omuddu wo eweebwenga omukisa gwo ennaku zonna.”#Zab 89:28,29
Currently Selected:
2 Samwiri 7: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.