1 Abakkolinso 1
1
Okwanjula
(1:1-9)
Okulamusa abawandiikirwa ebbaluwa
1Pawulo, eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw'okwagala kwa Katonda, ne Sossene ow'oluganda, 2eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abaayitibwa okuba abatukuvu, wamu ne bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, ye Mukama waabwe era owaffe:#1 Kol 6:11, Bik 9:14 3ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.#Bar 1:7
4Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw'ekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu; 5kubanga mu buli kigambo mwagaggawalira mu ye, mu kwogera kwonna ne mu kutegeera kwonna; 6ng'okutegeeza kwa Kristo bwe kwanywezebwa mu mmwe: 7mmwe obutaweebuuka mu kirabo kyonna; nga mulindirira okubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo;#Luk 17:30, 2 Bas 1:7, Tit 2:13 8era alibanyweza okutuusa ku nkomerero, obutabaako kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.#Baf 1:6, 1 Bas 3:13; 5:23 9Katonda mwesigwa, eyabayita okuyingira mu kusseekimu kw'Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe.#1 Bas 5:24, 1 Yok 1:3
Si kirungi ekkanisa okwesalamu
(1:10—4:21)
Kristo tasaanye kwawulwamu
10Naye mbeegayirira, ab'oluganda, olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganye mwekka na mwekka, okwawukana kulemenga okuba mu mmwe, naye mube n'omutima gumu n'okulowooza kumu.#Baf 2:2; 3:16 11Kubanga nnabuulirwa ebifa gye muli, baganda bange, abo ab'omu nnyumba ya Kuloowe, ng'eriyo ennyombo mu mmwe. 12Kye njogedde kye kino nti buli muntu mu mmwe ayogera nti, “Nze ndi wa Pawulo;” “nange wa Apolo;” “nange wa Keefa;” “nange wa Kristo.”#Bik 18:24,27, 1 Kol 3:4, Yok 1:42 13Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku lwammwe? Oba mwabatizibwa okuyingira mu linnya lya Pawulo? 14Nneebaza Katonda kubanga sibatizanga muntu yenna mu mmwe, wabula Kulisupo ne Gaayo;#Bik 18:8, Bar 16:23 15omuntu yenna alemenga okwogera nga mwabatizibwa okuyingira mu linnya lyange. 16Era nnabatiza n'ennyumba ya Suteefana, nate simanyi nga nnabatiza omuntu omulala yenna. 17Kubanga Kristo teyantuma kubatiza, wabula okubuulira Enjiri: si mu magezi ga bigambo, omusalaba gwa Kristo gulemenga okuba ogw'obwereere.#Yok 4:2, Mat 28:19
18Kubanga ekigambo eky'omusalaba bwe busirusiru eri abo abazikirira; naye eri ffe abalokolebwa ge maanyi ga Katonda. 19Kubanga kyawandiikibwa nti,
“Ndizikiriza amagezi g'abagezigezi,
N'obukabakaba bw'abakabakaba
ndibuggyawo.”#Is 29:14
20Kale Omugezi aluwa? Omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi ow'omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag'ensi eno okuba obusirusiru?#Yob 12:17, Is 19:12; 33:18 21Kubanga Katonda mu magezi ge, yalaba ng'ensi teyinza kumumanya ng'eyita amagezi gaayo, Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirisiru bw'okubuulira Enjiri okulokola abo abakkiriza.#Mat 11:25, Luk 8:12 22Kubanga Abayudaaya basaba obubonero, n'Abayonaani banoonya amagezi:#Mat 12:38, Yok 4:48, Bik 17:18,32 23naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa, eri Abayudaaya nkonge, n'eri ab'amawanga busirusiru;#1 Kol 2:14, Bar 9:32 24naye eri abo abayite Abayudaaya era n'Abayonaani, Kristo maanyi ga Katonda, era magezi ga Katonda.#Bak 2:3 25Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.#2 Kol 13:4
26Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe, ab'oluganda, ng'ab'amagezi ag'omubiri si bangi abayitibwa, ab'amaanyi si bangi, ab'ekitiibwa si bangi;#Mat 11:25, Yok 7:48 27naye Katonda yalonda ebisirusiru eby'ensi, akwase abagezigezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby'ensi, akwase ab'amaanyi ensonyi, #Yak 2:1-5 28n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabironda era n'ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo; 29waleme kubaawo muntu yenna eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda.#Bar 3:27, Bef 2:9 30Naye ku bw'oyo mmwe muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gyetuli okuva eri Katonda, era n'obutuukirivu, n'okutukuzibwa, n'okununulibwa:#Yer 23:5,6, 2 Kol 5:21, Yok 17:19 31nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eyeenyumiriza, yeenyumiririzenga mu Mukama.”#Yer 9:23,24
Currently Selected:
1 Abakkolinso 1: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: