Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe, n'okwagala kwe, kw'ayagalamu abantu bwe byalabika, n'atulokola, si lwa bikolwa byaffe ebirungi bye twakola, wabula lwa kusaasira kwe. Yatulokola ng'atunaaza, ne tuzaalibwa omulundi ogwokubiri, ne tufuuka abaggya olwa Mwoyo Mutuukirivu, gwe yatubunduggulako ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waffe. Ekyo yakikola tulyoke tutukuzibwe olw'ekisa kye, era tuweebwe obulamu obutaggwaawo, bwe tusuubira.