1
ABAROOMA 5:8
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Naye Katonda alagira ddala nga bw'atwagala, kubanga Kristo yatufiirira bwe twali nga tukyali boonoonyi.
Compare
Explore ABAROOMA 5:8
2
ABAROOMA 5:5
Ate okusuubira okwo tekutuswaza, kubanga okwagala kwa Katonda kwabunduggulwa mu mitima gyaffe ku bwa Mwoyo Mutuukirivu gwe twaweebwa.
Explore ABAROOMA 5:5
3
ABAROOMA 5:3-4
Si ekyo kyokka, naye twongerako n'okusanyuka mu kubonaabona kwaffe nga tumanyi nti okubonaabona kuvaamu okugumiikiriza, okugumiikiriza ne kuvaamu okusiimibwa Katonda, n'okusiimibwa Katonda ne kuvaamu okusuubira.
Explore ABAROOMA 5:3-4
4
ABAROOMA 5:1-2
Kale nga bwe tubaliddwa okuba abatuukirivu olw'okukkiriza, tulina emirembe mu maaso ga Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo. Mu ye mwe twayita okutuuka ku kisa kya Katonda kye tulimu, era tusanyuka olw'okusuubira okugabana ku kitiibwa kya Katonda.
Explore ABAROOMA 5:1-2
5
ABAROOMA 5:6
Bwe twali nga tetweyinza, Kristo yafiirira aboonoonyi, mu kiseera Katonda kye yateesa.
Explore ABAROOMA 5:6
6
ABAROOMA 5:9
Kaakano nga bwe tubalibwa okuba abatuukirivu olw'okufa kwe, tugenda kusingawo nnyo okulokolebwa ku bubwe, tuwone obusungu bwa Katonda.
Explore ABAROOMA 5:9
7
ABAROOMA 5:19
N'olwekyo, ng'obujeemu bw'omuntu omu bwe bwaleetera abangi okuba aboonoonyi, bwe butyo n'obuwulize bw'omuntu omu, bulireetera bangi okuba abatuukirivu.
Explore ABAROOMA 5:19
8
ABAROOMA 5:11
Era si ekyo kyokka, wabula twongerako n'okusanyukira mu Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, atutuusizza kaakano ku kutabagana okwo.
Explore ABAROOMA 5:11