1
ABAROOMA 14:17-18
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kulya na kunywa, wabula mu butuukirivu na mirembe na ssanyu, Mwoyo Mutuukirivu by'atuwa. Aweereza bw'atyo Kristo, asanyusa nnyo Katonda, era abantu bamusiima.
Compare
Explore ABAROOMA 14:17-18
2
ABAROOMA 14:8
Bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama. Era bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. N'olwekyo oba tuba balamu oba tufa, tuba ba Mukama.
Explore ABAROOMA 14:8
3
ABAROOMA 14:19
Kale tunyiikirirenga ebireeta emirembe n'ebiyamba buli omu okuzimba munne.
Explore ABAROOMA 14:19
4
ABAROOMA 14:13
Kale tulekere awo okunenyagananga, naye mumalirire obutaleetawo kyesittaza wa luganda oba ekimusuula mu kibi.
Explore ABAROOMA 14:13
5
ABAROOMA 14:11-12
kubanga kyawandiikibwa nti: “Mukama agamba nti: nga bwe ndi omulamu, buli muntu alinfukaamirira. Era buli muntu alintendereza nze Katonda.” N'olwekyo buli muntu mu ffe alyennyonnyolerako mu maaso ga Katonda.
Explore ABAROOMA 14:11-12
6
ABAROOMA 14:1
Atali munywevu mu kukkiriza temumugobaganyanga, naye era temuwakananga naye ku ebyo by'abuusabuusaamu.
Explore ABAROOMA 14:1
7
ABAROOMA 14:4
Ggwe ani anenya omuweereza w'omulala? Mukama we ye asalawo oba akola bulungi oba akola bubi. Era ajja kukola bulungi, kubanga Mukama ye amusobozesa okuyimirirawo.
Explore ABAROOMA 14:4