1
ABAROOMA 10:9
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Bw'oyatula n'akamwa ko nti: Yesu ye Mukama, era n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza, olirokolebwa.
Compare
Explore ABAROOMA 10:9
2
ABAROOMA 10:10
Omuntu akkiriza na mutima gwe n'aba omutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n'alokolebwa.
Explore ABAROOMA 10:10
3
ABAROOMA 10:17
N'olwekyo okukkiriza kuva mu ebyo ebiwulirwa, n'ebiwulirwa biva mu kutegeeza bantu ebifa ku Kristo.
Explore ABAROOMA 10:17
4
ABAROOMA 10:11-13
Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti “Buli amukkiriza taliswazibwa,” tekisosola Muyudaaya na wa ggwanga ddala. Bonna Mukama waabwe ye omu, agaggawaza bonna abamukoowoola. Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokolebwa.”
Explore ABAROOMA 10:11-13
5
ABAROOMA 10:15
Era baliyinza batya okutegeezebwa, nga tewali batumiddwa? Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Okujja kw'abo abaleeta Amawulire Amalungi nga kulungi!”
Explore ABAROOMA 10:15
6
ABAROOMA 10:14
Naye baliyinza batya okukoowoola gwe batannakkiriza? Era baliyinza batya okukkiriza gwe batawulirangako? Era baliyinza batya okumuwulirako, nga tewali abategeeza?
Explore ABAROOMA 10:14
7
ABAROOMA 10:4
Ekigendererwa ky'Amateeka kituukirizibwa mu Kristo, buli akkiriza alyoke abe mutuukirivu.
Explore ABAROOMA 10:4