1
YAKOBO 3:17
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Naye amagezi agava mu ggulu, okusookera ddala malongoofu, ate ga mirembe, mawombeefu, gawuliriza ensonga, gajjudde ekisa era n'ebikolwa ebirungi; meesimbu, tegaliimu bukuusa.
Compare
Explore YAKOBO 3:17
2
YAKOBO 3:13
Mu mmwe mulimu alina amagezi n'okutegeera? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi, mu bikolwa bye ebirungi by'akola n'obwetoowaze era n'amagezi.
Explore YAKOBO 3:13
3
YAKOBO 3:18
Obwenkanya kye kibala ekiva mu nsigo abaleesi b'emirembe gye basiga, nga bakolerera emirembe.
Explore YAKOBO 3:18
4
YAKOBO 3:16
Awaba obuggya n'abantu okwefaako bokka, wabaawo kutabuka era n'ebikolwa ebibi ebya buli ngeri.
Explore YAKOBO 3:16
5
YAKOBO 3:9-10
Lwe tutenderezesa Mukama era Kitaffe, era lwe tukolimiza abantu, abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. Mu kamwa ke kamu, mwe muva okutendereza era n'okukolima. Baganda bange, ekyo tekigwanira kuba bwe kityo.
Explore YAKOBO 3:9-10
6
YAKOBO 3:6
N'olulimi muliro. Lujjudde obubi. Kitundu kya mubiri gwaffe, naye lwonoona omubiri gwonna. Luteekera ebitonde byonna omuliro, nga luguggya mu muliro ogutazikira.
Explore YAKOBO 3:6
7
YAKOBO 3:8
Naye olulimi tewali muntu ayinza kulufuga. Olulimi kye kintu ekibi, ekitafugika, ekijjudde obutwa kattira.
Explore YAKOBO 3:8
8
YAKOBO 3:1
Baganda bange, bangi mu mmwe muleme kuba bayigiriza, kubanga mumanyi nti ffe abayigiriza tulisalirwa omusango n'obukambwe okusinga abalala.
Explore YAKOBO 3:1