1
2 ABAKORINTO 9:8
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Era Katonda ayinza okubawa ebyo ebisinga ku bye mwetaaga, mulyoke mube na bingi bulijjo, era mugabe bingi olwa buli mulimu omulungi.
Compare
Explore 2 ABAKORINTO 9:8
2
2 ABAKORINTO 9:7
Kale buli omu akole nga bw'amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya, wadde olw'okuwalirizibwa. Katonda ayagala oyo agaba nga musanyufu.
Explore 2 ABAKORINTO 9:7
3
2 ABAKORINTO 9:6
Mujjukire nti oyo asiga ng'akekkereza ensigo, alikungula bitono; kyokka oyo asiga ennyingi, alikungula bingi.
Explore 2 ABAKORINTO 9:6
4
2 ABAKORINTO 9:10-11
Era Katonda awa omusizi ensigo, n'amuwa n'emmere ey'okulya, anaayazanga ensigo zammwe ne mweyongera okugaba. Anaabagaggawazanga mu byonna ne mugaba nnyo, abantu balyoke beebazenga Katonda olw'ebyo bye tukoze.
Explore 2 ABAKORINTO 9:10-11
5
2 ABAKORINTO 9:15
Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekyo ekitanyumizika.
Explore 2 ABAKORINTO 9:15