1
2 ABAKORINTO 6:14
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Temwegattanga wamu na batakkiriza, kubanga tekibasaanira mmwe. Kale obutuukirivu butabagana butya n'obujeemu? Oba ekitangaala kitabagana kitya n'ekizikiza?
Compare
Explore 2 ABAKORINTO 6:14
2
2 ABAKORINTO 6:16
Era Essinzizo lya Katonda litabagana litya n'ebyo ebitali Katonda? Ffe tuli Ssinzizo lya Katonda Nnannyinibulamu. Nga ye bw'agamba nti: “Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo. Ndiba Katonda waabwe, nabo ne baba bantu bange.”
Explore 2 ABAKORINTO 6:16
3
2 ABAKORINTO 6:17-18
Era Mukama agamba nti: “N'olwekyo mubaveemu, mwawukane nabo. Era temukwatanga ku kitali kirongoofu, olwo nange ndibaaniriza mmwe. Ndiba kitammwe, nammwe ne muba batabani bange ne bawala bange. Bw'atyo Mukama Omuyinzawaabyonna bw'agamba.”
Explore 2 ABAKORINTO 6:17-18
4
2 ABAKORINTO 6:15
Era Kristo atabagana atya ne Sitaani? Oba, omugoberezi wa Kristo atabagana atya n'atali mugoberezi wa Kristo?
Explore 2 ABAKORINTO 6:15