1
2 ABAKORINTO 11:14-15
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Era ekyo tekyewuunyisa, kubanga ne Sitaani yefuula malayika ow'ekitangaala. N'olwekyo kyangu n'abaweereza be okwefuula abaweereza b'eby'obutuukirivu. Ku nkomerero baliweebwa ekibasaanira olw'ebikolwa byabwe.
Compare
Explore 2 ABAKORINTO 11:14-15
2
2 ABAKORINTO 11:3
Kyokka ntya nti ng'omusota bwe gwalimbalimba Haawa olw'obukujjukujju bwagwo, ebirowoozo byammwe bijja kubakyamya, muleme okweweerayo ddala eri Kristo mu mazima.
Explore 2 ABAKORINTO 11:3
3
2 ABAKORINTO 11:30
Oba nga ndi wa kwenyumiriza, nja kwenyumirizanga olw'ebyo ebiraga obunafu bwange.
Explore 2 ABAKORINTO 11:30