N'olwekyo njagala abasajja, buli wantu beegayirirenga Katonda, nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.
Era njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, na mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n'amayinja ag'omuwendo, wadde okwambala engoye ez'omuwendo ennyo, wabula bakole ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.