1
Mat 27:46
BIBULIYA ENTUKUVU
BIBU1
Nga ku ssaawa eyoomwenda Yezu n'aleekaana n'eddoboozi ddene nti: “Eli, Eli, lama sabakitani?” kwe kugamba nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
Compare
Explore Mat 27:46
2
Mat 27:51-52
Awo olutimbe lw'omu Kiggwa ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana, enjazi ne ziryeryebuka, n'entaana ne zaasama, n'emibiri mingi egy'abatuukirivu abaali bafudde ne gizuukira.
Explore Mat 27:51-52
3
Mat 27:50
Ate Yezu n'addamu okukoowoola n'eddoboozi eddene, n'awaayo omwoyo gwe.
Explore Mat 27:50
4
Mat 27:54
Senturiyo n'abaali naye nga bakuuma Yezu, bwe baalaba ensi ng'ekankana n'ebyo byonna ebyabaawo, ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Ggwe wamma ono abadde Mwana wa Katonda.”
Explore Mat 27:54
5
Mat 27:45
Okuva ku ssaawa eyoomukaga ekizikiza ne kibikka ensi yonna okutuusa ku ssaawa eyoomwenda.
Explore Mat 27:45
6
Mat 27:22-23
Pilato n'abagamba nti: “Yezu ayitibwa Kristu mmukole ntya?” Bonna ne bagamba nti: “Akomererwe ku musaalaba.” N'abagamba nti: “Ddala yakola kibi ki?” Bo ne beeyongera okukaalaama nga bagamba nti: “Akomererwe ku musaalaba.”
Explore Mat 27:22-23
Home
Bible
Plans
Videos