Kale nno obanga Katonda yabawa ekirabo kye kimu kye yawa ffe abakkiriza Omukama Yezu Kristu, nandibadde ani nze okuziyiza Katonda?” Bwe baawulira ebyo, ne basirika, ne batendereza Katonda nga bagamba nti: “Awo nno n'ab'amawanga nabo Katonda abawadde okubonerera bafune obulamu.”