1
Abaruumi 15:13
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Era Katonda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n'emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu.
Compare
Explore Abaruumi 15:13
2
Abaruumi 15:4
Kubanga byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n'okusuubira olw'okugumiikiriza n'olw'okusanyusa kw'ebyawandiikibwa.
Explore Abaruumi 15:4
3
Abaruumi 15:5-6
Era Katonda w'okugumiikiriza n'okusanyusa abawe mmwe okulowoozanga obumu mwekka na mwekka mu ngeri ya Kristo Yesu: mulyoke muwenga ekitiibwa Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo ogumu n'akamwa akamu.
Explore Abaruumi 15:5-6
4
Abaruumi 15:7
Kale musembezaganyenga mwekka na mwekka, nga Kristo bwe yabasembeza mmwe, olw'ekitiibwa kya Katonda.
Explore Abaruumi 15:7
5
Abaruumi 15:2
Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw'okuzimba.
Explore Abaruumi 15:2
Home
Bible
Plans
Videos