1
Abaruumi 12:2
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.
Compare
Explore Abaruumi 12:2
2
Abaruumi 12:1
Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi.
Explore Abaruumi 12:1
3
Abaruumi 12:12
musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba
Explore Abaruumi 12:12
4
Abaruumi 12:21
Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi.
Explore Abaruumi 12:21
5
Abaruumi 12:10
Mu kwagala kw'ab'oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne
Explore Abaruumi 12:10
6
Abaruumi 12:9
Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, mwegattenga n'obulungi.
Explore Abaruumi 12:9
7
Abaruumi 12:18
Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna.
Explore Abaruumi 12:18
8
Abaruumi 12:19
Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.
Explore Abaruumi 12:19
9
Abaruumi 12:11
mu kunyiikira si bagayaavu; abasanyufu mu mwoyo; nga mubeeranga baddu ba Mukama waffe
Explore Abaruumi 12:11
10
Abaruumi 12:3
Kubanga njogera, olw'ekisa kye nnaweebwa, eri buli muntu ali mu mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza.
Explore Abaruumi 12:3
11
Abaruumi 12:17
Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga ebirungi mu maaso g'abantu bonna.
Explore Abaruumi 12:17
12
Abaruumi 12:16
Mulowoozenga bumu mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mugendenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka.
Explore Abaruumi 12:16
13
Abaruumi 12:20
Naye omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, munywesenga: kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.
Explore Abaruumi 12:20
14
Abaruumi 12:14-15
Musabirenga ababayigganya; musabirenga, so temukolimanga. Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba.
Explore Abaruumi 12:14-15
15
Abaruumi 12:13
mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abagenyi.
Explore Abaruumi 12:13
16
Abaruumi 12:4-5
Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, naye ebitundu byonna tebirina mulimu gumu: bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka.
Explore Abaruumi 12:4-5
Home
Bible
Plans
Videos