nti Nange, laba, nze nziye Abaleevi mu baana ba Isiraeri mu kifo ky'ababereberye abaggulanda mu baana ba Isiraeri; n'Abaleevi banaabanga bange: kubanga ababereberye bonna bange; ku lunaku lwe nnattiramu ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri nneetukuliza ababereberye bonna mu Isiraeri, abantu era n'ensolo: banaabanga bange; nze ndi Mukama.