1
Makko 14:36
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
N'agamba nti Aba, Kitange, byonna biyinzika gy'oli; nziyaako ekikompe kino; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.
Compare
Explore Makko 14:36
2
Makko 14:38
Mutunule, musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala, naye omubiri gwe munafu.
Explore Makko 14:38
3
Makko 14:9
Mazima mbagamba nti Enjiri buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.
Explore Makko 14:9
4
Makko 14:34
N'abagamba nti emmeeme yange eriko ennaku nnyingi, zigenda kunzita: mubeere wano, mutunule.
Explore Makko 14:34
5
Makko 14:22
Awo bwe baali balya, n'atoola omugaati, awo bwe yamala okwebaza n'agumenyamu, n'abawa, n'agamba nti Mutoole; guno gwe mubiri gwange.
Explore Makko 14:22
6
Makko 14:23-24
N'addira ekikompe, awo bwe yamala okweyanza, n'abawa; ne bakinywako bonna. N'abagamba nti Guno gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika olw'abangi.
Explore Makko 14:23-24
7
Makko 14:27
Awo Yesu n'abagamba nti Muneesittala mwenna: kubanga kyawandiikibwa nti Ndikuba omusumba, n'endiga zirisaasaana.
Explore Makko 14:27
8
Makko 14:42
Muyimuke, tugende; laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.
Explore Makko 14:42
9
Makko 14:30
Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti ggwe leero, ekiro kino, enkoko eneeba tennakookolima emirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.
Explore Makko 14:30