Yesu n'addamu nti ery'olubereberye lye lino nti Wulira Isiraeri; Mukama Katonda waffe, Mukama ye omu; era yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna. Ery'okubiri lye lino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Tewali tteeka ddala erisinga ago obukulu.