1
Matayo 4:4
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Naye n'addamu n'agamba nti Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.
Compare
Explore Matayo 4:4
2
Matayo 4:10
Awo Yesu n'amugamba nti Vaawo genda, Setaani: kubanga kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, era omuweerezanga yekka.
Explore Matayo 4:10
3
Matayo 4:7
Yesu n'amugamba nti Kyawandiikibwa nate nti tokemanga Mukama Katonda wo.
Explore Matayo 4:7
4
Matayo 4:1-2
Awo Yesu n'atwalibwa Omwoyo mu ddungu okukemebwa Setaani. Bwe yamala okusiiba ennaku amakumi ana, emisana n'ekiro, enjala n'eryoka emuluma.
Explore Matayo 4:1-2
5
Matayo 4:19-20
N'abagamba nti Mujje, muyite nange, nange ndibafuula abavubi b'abantu. Amangu ago ne baleka emigonjo, ne bayita naye.
Explore Matayo 4:19-20
6
Matayo 4:17
Yesu n'asookera awo okubuulira n'okugamba nti Mwenenye; kubanga okwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.
Explore Matayo 4:17
Home
Bible
Plans
Videos