1
Matayo 27:46
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Obudde bwe bwatuuka ng'essaawa ey'omwenda Yesu n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba nti Eri, Eri, lama sabakusaani? amakulu gaakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?
Compare
Explore Matayo 27:46
2
Matayo 27:51-52
Laba, eggigi lya yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana; enjazi ne zaatika: entaana ne zibikkuka; emirambo mingi egy'abatukuvu abaali beebase ne gizuukizibwa
Explore Matayo 27:51-52
3
Matayo 27:50
Naye Yesu n'ayogerera nate waggulu n'eddoboozi ddene, n'ata omwoyo gwe.
Explore Matayo 27:50
4
Matayo 27:54
Naye omwami w'ekitongole, na bali abaali naye nga batunuulira Yesu, bwe baalaba ekikankano, n'ebigambo ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti Mazima ono abadde Mwana wa Katonda.
Explore Matayo 27:54
5
Matayo 27:45
Naye okuva ku ssaawa ey'omukaaga kyali kizikiza ku nsi yonna okutuuka ku ssaawa ey'omwenda.
Explore Matayo 27:45
6
Matayo 27:22-23
Piraato n'abagamba nti Kale nnaakola ntya Yesu ayitibwa Kristo? Bonna ne bagamba nti Akomererwe. Naye n'agamba nti Lwaki? ekibi ky'akoze kiruwa? Naye ne bakaayana nnyo, ne bagamba nti Akomererwe.
Explore Matayo 27:22-23