1
Ekyabalamuzi 16:20
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
N'ayogera nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'azuukuka mu tulo twe n'ayogera nti Naafuluma ng'obw'edda, ne nneekunkumula. Naye yali tamanyi nga Mukama amulese.
Compare
Explore Ekyabalamuzi 16:20
2
Ekyabalamuzi 16:28
Awo Samusooni n'akaabira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda, njijukira, nkwegayirira, ompe amaanyi, nkwegayirira, omulundi guno gwokka, ai Katonda, mpalane eggwanga mangu ago ku Bafirisuuti olw'amaaso gange gombi.
Explore Ekyabalamuzi 16:28
3
Ekyabalamuzi 16:17
N'amubuulira byonna (ebyali mu) mutima gwe, n'amugamba nti Akamwano tekayitanga ku mutwe gwange; kubanga ndi Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mange: bwe ndiba nga mmwereddwa, amaanyi gange ne galyoka ganvaako, ne nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.
Explore Ekyabalamuzi 16:17
4
Ekyabalamuzi 16:16
Awo olwatuuka bwe yamutayiriranga buli lunaku n'ebigambo bye n'amwegayiriranga, obulamu bwe ne bwagala okufa ennaku.
Explore Ekyabalamuzi 16:16
5
Ekyabalamuzi 16:30
Samusooni n'ayogera nti Nfiire wamu n'Abafirisuuti. N'akutama n'amaanyi ge gonna; enju n'egwa ku bakungu ne ku bantu bonna abaali omwo. Bwe batyo abaafa be yattira mu kufa kwe baali bangi okusinga be yatta nga mulamu.
Explore Ekyabalamuzi 16:30