1
Abaefeso 6:12
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu.
Compare
Explore Abaefeso 6:12
2
Abaefeso 6:18
nga musabanga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n'okwegayiriranga kwonna n'okwegayirirrianga abatukuvu kusaba okwo mu kunyiikiranga kwonna n'okwegayiririranga abatukuvu bonna.
Explore Abaefeso 6:18
3
Abaefeso 6:11
Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.
Explore Abaefeso 6:11
4
Abaefeso 6:13
Kale mutwalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira.
Explore Abaefeso 6:13
5
Abaefeso 6:16-17
era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey'okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw'omuliro obw'omubi. Muweebwe ne sseppewo ey'obulokovu, n'ekitala eky'Omwoyo, kye kigambo kya Katonda
Explore Abaefeso 6:16-17
6
Abaefeso 6:14-15
Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky'omu kifuba obutuukirivu, era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw'enjiri ey'emirembe
Explore Abaefeso 6:14-15
7
Abaefeso 6:10
Eky'enkomerero, mubenga n'amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw'amaanyi ge.
Explore Abaefeso 6:10
8
Abaefeso 6:2-3
Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko (lye tteeka ery'olubereberye eririmu okusuubiza), olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi.
Explore Abaefeso 6:2-3
9
Abaefeso 6:1
Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi.
Explore Abaefeso 6:1