Awo olwatuuka akawungeezi Dawudi n'agolokoka n'ava ku kitanda kye n'atambula waggulu ku nnyumba ya kabaka: era ng'ayima ku nnyumba n'alaba omukazi ng'anaaba; era omukazi yali mulungi nnyo okutunuulira. Awo Dawudi n'atuma n'abuuza omukazi bw'ali. Ne wabaawo eyayogera nti Oyo si Basuseba muwala wa Eriyaamu, mukazi wa Uliya Omukiiti?