Kale
Muve wakati w'abo, mweyawule, bw'ayogera Mukama,
So temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu;
Nange ndibasembeza,
Era nnaabeeranga Kitammwe gye muli,
Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala,
bw'ayogera Mukama Omuyinza w'ebintu byonna.