1
2 Abakkolinso 11:14-15
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
So si kya magero; kubanga ne Setaani yeefaananya nga malayika ow'omusana. Kale si kitalo era n'abaweereza be bwe beefaananya ng'abaweereza ab'obutuukirivu; enkomerero yaabwe eribeera ng'ebikolwa byabwe.
Compare
Explore 2 Abakkolinso 11:14-15
2
2 Abakkolinso 11:3
Naye ntidde, ng'omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo, mpozzi ebirowoozo byammwe okwonoonebwanga mu kulaba wamu ne mu bulongoofu ebiri eri Kristo.
Explore 2 Abakkolinso 11:3
3
2 Abakkolinso 11:30
Oba nga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, nneenyumirizanga olw'eby'obunafu bwange.
Explore 2 Abakkolinso 11:30