Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'okusaasira era Katonda ow'okusanyusa kwonna; atusanyusa mu buli kibonoobono kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okusanyusanga abali mu kubonaabona kwonna, n'okusanyusa ffe kwe tusanyusibwa Katonda.