1
1 Samwiri 12:24
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Kyokka mutyenga Mukama mumuweererezenga mu mazima n'omutima gwammwe gwonna: kubanga mulowooze ebigambo bye yabakolera bwe byenkana obukulu.
Compare
Explore 1 Samwiri 12:24
2
1 Samwiri 12:22
Kubanga Mukama taayabulirenga bantu be olw'erinnya lye ekkulu: kubanga Mukama yasiima okubeefuulira yekka eggwanga.
Explore 1 Samwiri 12:22
3
1 Samwiri 12:20
Samwiri n'agamba abantu nti Temutya: okukola mwakola ekibi kino kyonna: naye temukyamanga obutagobereranga Mukama, naye muweerezenga Mukama n'omutima gwammwe gwonna
Explore 1 Samwiri 12:20
4
1 Samwiri 12:21
so temukyamanga: kubanga kwe kwandibadde okugoberera ebitaliimu ebitayinza kugasa newakubadde okulokola, kubanga tebiriimu.
Explore 1 Samwiri 12:21