1
1 Bassekabaka 19:12
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
awo oluvannyuma lw'ekikankano muliro; naye Mukama nga tali mu muliro: awo oluvannyuma lw'omuliro ddoboozi ttono lya ggonjebwa.
Compare
Explore 1 Bassekabaka 19:12
2
1 Bassekabaka 19:4
Naye ye yennyini n'atambula olugendo olw'olunaku lumu mu ddungu, n'ajja n'atuula wansi w'omwoloola: ne yeesabira okufa; n'ayogera nti Kinaamala; kaakano, ai Mukama, nziyaako obulamu bwange; kubanga sisinga bajjajjange obulungi.
Explore 1 Bassekabaka 19:4
3
1 Bassekabaka 19:11
N'ayogera nti Fuluma oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama. Kale, laba, Mukama n'ayitawo, embuyaga nnyingi ez'amaanyi ne zimenya ensozi ne zaasa enjazi mu maaso ga Mukama; naye Mukama nga tali mu mbuyaga: awo oluvannyuma lw'embuyaga kikankano kya nsi; naye Mukama nga tali mu kikankano ky'ensi
Explore 1 Bassekabaka 19:11
4
1 Bassekabaka 19:13
Awo olwatuuka Eriya bwe yaliwulira, ne yeebikka amaaso ge mu munagiro, n'afuluma n'ayimirira mu mulyango gw'empuku. Kale, laba, ne wamujjira eddoboozi, ne lyogera nti Okola ki wano Eriya?
Explore 1 Bassekabaka 19:13
5
1 Bassekabaka 19:9
N'atuukayo n'ayingira mu mpuku n'asula omwo; kale, laba, ekigambo kya Mukama ne kimujjira, n'amugamba nti Okola ki wano, Eriya?
Explore 1 Bassekabaka 19:9
6
1 Bassekabaka 19:8
N'agolokoka n'alya n'anywa, n'atambula mu maanyi ag'emmere eyo ennaku amakumi ana emisana n'ekiro n'atuuka e Kolebu olusozi lwa Katonda.
Explore 1 Bassekabaka 19:8
7
1 Bassekabaka 19:5
N'agalamira ne yeebaka wansi w'omwoloola; kale, laba malayika n'amukomako, n'amugamba nti Golokoka olye.
Explore 1 Bassekabaka 19:5
8
1 Bassekabaka 19:7
Malayika wa Mukama n'ajja nate omulundi ogw'okubiri n'amukomako n'ayogera nti Golokoka olye; kubanga olugendo lukuyinze obunene.
Explore 1 Bassekabaka 19:7
9
1 Bassekabaka 19:10
N'ayogera nti Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo, basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala: nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo.
Explore 1 Bassekabaka 19:10
10
1 Bassekabaka 19:6
N'atunula, kale, laba, omugaati nga guli awali omutwe gwe ogwokeddwa ku manda n'akasumbi ak'amazzi. N'alya n'anywa n'agalamira nate.
Explore 1 Bassekabaka 19:6
11
1 Bassekabaka 19:2
Awo Yezeberi n'atumira Eriya omubaka ng'ayogera nti Bakatonda bankole bwe batyo n'okukirawo, bwe sirifuula obulamu bwo okuba ng'obulamu bw'omu ku bo enkya bwe buliba nga kampegaano.
Explore 1 Bassekabaka 19:2
12
1 Bassekabaka 19:18
Era naye ndyesigaliza akasanvu mu Isiraeri amaviivi gonna agatafukaamiriranga Baali na buli kamwa akatamunywegeranga.
Explore 1 Bassekabaka 19:18
13
1 Bassekabaka 19:19
Awo n'avaayo n'asanga Erisa mutabani wa Safati eyali ng'alima ng'alina mu maaso ge emigogo gy'ente kkumi n'ebiri, ye ng'alina ogw'ekkumi n'ebiri: awo Eriya n'asomoka okugenda gy'ali n'amusuulako omunagiro gwe.
Explore 1 Bassekabaka 19:19
14
1 Bassekabaka 19:21
N'addayo n'atamugoberera n'addira omugogo gw'ente n'azitta, n'afumba ennyama yaazo n'ebintu eby'ente, n'agabira abantu ne balya. Awo n'agolokoka n'agoberera Eriya n'amuweereza.
Explore 1 Bassekabaka 19:21
15
1 Bassekabaka 19:20
Awo n'aleka ente, n'adduka mbiro okugoberera Eriya, n'ayogera nti Nkwegayiridde, ka mmale okunywegera kitange ne mmange, ndyoke nkugoberere. N'amugamba nti Ddayo; kubanga nkukoze ki?
Explore 1 Bassekabaka 19:20