1
1 Bassekabaka 17:14
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey'obutta terikendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw'alitonnyesa enkuba ku nsi.
Compare
Explore 1 Bassekabaka 17:14
2
1 Bassekabaka 17:1
Awo Eriya Omutisubi, eyali ku abo abaatuula e Gireyaadi, n'agamba Akabu nti Mukama Katonda wa Isiraeri nga bw'ali omulamu gwe nnyimiririra mu maaso ge, tewaabenga musulo newakubadde enkuba mu myaka gino, wabula ng'ekigambo kyange bwe kiri.
Explore 1 Bassekabaka 17:1
3
1 Bassekabaka 17:13
Awo Eriya n'amugamba nti Totya; genda okole nga bw'oyogedde: naye sooka obunfumbiremu akagaati, okaleete gye ndi, oluvannyuma weefumbire wekka n'omwana wo.
Explore 1 Bassekabaka 17:13
4
1 Bassekabaka 17:12
N'ayogera nti Nga Mukama Katonda wo bw'ali omulamu, sirina mugaati, wabula olubatu lw'obutta mu ppipa n'otufuta mu kasumbi: era, laba nsennya enku bbiri nnyingire neefumbire nze n'omwana wange, tubulye tufe.
Explore 1 Bassekabaka 17:12
5
1 Bassekabaka 17:9
nti Golokoka ogende e Zalefaasi ekya Sidoni, obeere eyo: laba, ndagidde omukazi nnamwandu ali eyo okukuliisanga.
Explore 1 Bassekabaka 17:9
6
1 Bassekabaka 17:16
Eppipa ey'obutta teyakendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaggwaawo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya.
Explore 1 Bassekabaka 17:16
7
1 Bassekabaka 17:15
Awo n'agenda n'akola nga Eriya bw'ayogedde: omukazi naye n'ennyumba ye ne baliira ennaku nnyingi.
Explore 1 Bassekabaka 17:15
8
1 Bassekabaka 17:10
Awo n'agolokoka n'agenda e Zalefaasi: awo bwe yatuuka ku wankaaki w'ekibuga, laba, omukazi nnamwandu ng'ali eyo ng'alonda enku: n'amuyita n'ayogera nti Nkwegayiridde, nkimira otuzzi mu kibya, nnywe.
Explore 1 Bassekabaka 17:10
9
1 Bassekabaka 17:4
Awo olulituuka onoonyweranga mu kagga; era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo.
Explore 1 Bassekabaka 17:4
10
1 Bassekabaka 17:11
Awo ng'agenda okugakima, n'amuyita n'ayogera nti Nkwegayiridde, ndeetera akamere mu mukono gwo.
Explore 1 Bassekabaka 17:11
11
1 Bassekabaka 17:6
Awo bannamuŋŋoona ne bamuleeteranga emmere n'ennyama enkya, n'emmere n'ennyama akawungeezi; n'anywanga mu kagga.
Explore 1 Bassekabaka 17:6
12
1 Bassekabaka 17:7
Awo olwatuuka ddaaki akagga ne kakala olw'obutaba nkuba mu nsi.
Explore 1 Bassekabaka 17:7
13
1 Bassekabaka 17:24
Awo omukazi n'agamba Eriya nti Kaakano mmanyi ng'oli musajja wa Katonda, era ng'ekigambo kya Mukama mu kamwa ko ge mazima.
Explore 1 Bassekabaka 17:24
14
1 Bassekabaka 17:5
Awo n'agenda n'akola ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali: kubanga yagenda n'abeera awali akagga Kerisi akoolekera Yoludaani.
Explore 1 Bassekabaka 17:5
15
1 Bassekabaka 17:22
Mukama n'awulira eddoboozi lya Eriya; obulamu bw'omwana ne bumuddamu nate, n'alama.
Explore 1 Bassekabaka 17:22