1
Abaruumi 10:9
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka.
Compare
Explore Abaruumi 10:9
2
Abaruumi 10:10
Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka.
Explore Abaruumi 10:10
3
Abaruumi 10:17
Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.
Explore Abaruumi 10:17
4
Abaruumi 10:11-13
Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.
Explore Abaruumi 10:11-13
5
Abaruumi 10:15
Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.”
Explore Abaruumi 10:15
6
Abaruumi 10:14
Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira?
Explore Abaruumi 10:14
7
Abaruumi 10:4
Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza n’amuwa obutuukirivu.
Explore Abaruumi 10:4
Home
Bible
Plans
Videos