1
Okubikkulirwa 2:4
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda.
Compare
Explore Okubikkulirwa 2:4
2
Okubikkulirwa 2:5
Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bw’otookole bw’otyo ndijja gy’oli ne nzigyawo ekikondo ky’ettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya.
Explore Okubikkulirwa 2:5
3
Okubikkulirwa 2:10
Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.
Explore Okubikkulirwa 2:10
4
Okubikkulirwa 2:7
Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.
Explore Okubikkulirwa 2:7
5
Okubikkulirwa 2:2
Nti mmanyi ebikolwa byo n’okugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ng’ogezesezza abo abeeyita abatume n’obavumbula nga balimba.
Explore Okubikkulirwa 2:2
6
Okubikkulirwa 2:3
Era ogumiikirizza okubonaabona n’oguma olw’erinnya lyange, n’otokoowa.
Explore Okubikkulirwa 2:3
7
Okubikkulirwa 2:17
Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”
Explore Okubikkulirwa 2:17